POLIISI esaze ku bitundu byayo ebinene n’etondawo ebirala 3 n’eronda n’abagenda okubiduumira. Kiddiridde olukiiko lwa poliisi olw’oku ntikko okutuula ne lusalawo okutondawo ‘region’ endala ssatu nga zikutulwa kw’ezo ezibadde ennene nga zitwala disitulikiti nnyingi.
Akulira ebikwekweto mu poliisi, Frank Mwesigwa yagambye nti waliwo ebitundu ebibadde ebinene ennyo okusinzira ku disitulikiti ezibadde wansi waabyo kwe kusalawo okubyawulamu ne batondawo ebitundu ebirala, okusobozesa okusembeza obuweereza okumpi n’abantu.
Ebitundu ebyatondeddwaawo kuliko; Masaka North ekitwala disituliki okuli; Lyantonde awali ekitebe, Bukomansimbi ne Sembabule nga SSP Austin Ochen ye yasindikiddwa okukiduumira. Kino kyakutuddwa ku Greater Masakaekyasigazza disitulikiti okuli Masaka, Lwengo, Kyotera, Rakai, Kalungu ne Kalangala.
Ekitundu ekyokubiri ekyatondeddwaawo kye kya Budongo nga kirimu disitulikiti okuli; Masindi, awali ekitebe, Kiryandongo ne Buliisa nga ACP Damalie Nachuha ye yasindikiddwa okubeera omuduumuzi. Kino kyakutuddwa ku Albertine nga kino kyasigazza disitulikiti okuli; Hoima, Kikube, Kibaale, Kagadi ne Kakumiro .
Ekitundu kya Kyoga kyakutuddwaamu Kyoga East ekirimu disitulikiti okuli; Soroti, Amuria, Katakwi, Kapelebyong, Kaberemaido ne Kalaki ate Kyoga South ekirina ekitebe e Kumi nga kirimu disitulikiti okuli; Bukedea, Ngora ne Serere nga SSP David Katunda ye yasindikiddwa okubeera omuduumuzi waakyo.
Mu ngeri yeemu, SSP Martin Okoyo abadde aduumira poliisi ya CPS yasuumusiddwa n’atwalibwa okumyuka aduumira kitundu kya Kampala South.
ABAKULEMBEZE E MASAKA BOOGEDDE
Ahmed Nyombi Mukiibi wa LCV e Kalungu: Tetugaanye kusembeza mpeereza ya poliisi mu bitundu eby’enjawulo kuba kiyamba abatuuze baffe mu ngeri nnyingi, naye olumu tufuna okutya nti kiyinza obutayamba singa babeera batutteyo bizimbe byokka ng’ebigenderako okugeza ebimotoka ebizikiza omuliro, embwa ezikonga olusu n’abaserikale abamala n’omusaala omulungi tebiriiyo. Ebyo n’ebirala omuntu wa bulijjo by’asinga okwetaaga ku poliisi.
Jaffar Ssesanga amyuka RCC wa Masaka City e Nyendo Mukungwe: Okusembeza obuweereza bwa poliisi okumpi n’abantu kyakoleddwa mu mutima mulungi.
Joseph Gonzaga Ssewungu, mubaka wa Kalungu West: Tetwagala kukyamuukiriza bantu baffe nti bafunye empeereza za poliisi okumpi ng’enguzi n’okunyigiriza abateesobola bigenda kusigala nga bwe kiri kati. Ekitebe bwe kiba kipya twagala n’obuweereza bubeere bupya.
Mary Namuli: Kijjidde mu kiseera ekituufu ng’ebitundu byaffe bigenda kwetaaga obutebenkevu mu kulonda okubindabinda.