Amawulire

Omubaka Lulume Bayiga ayingidde mu nsonga z’abavuba mukene n’empuuta

Omubaka Lulume ayingidde mu nsonga z’abavuba mukene n’empuuta-azitwala mu palamenti

Omubaka Lulume Bayuiga ng'ali mu lukiiko n'abavubi
By: Saul Wokulira, Journalists @New Vision

Omubaka Lulume ayingidde mu nsonga z’abavuba mukene n’empuuta-azitwala mu palamenti

Omubaka akiikirira ekitundu kya Buikwe South mu palamenti, Dr. Micheal Lulume Bayiga yasitukiddemu okudduukirira enduulu n’emiranga okuva mu bavubi n’abasuubuzi ba mukene ng’entabwe eva ku kiragiro ekiwera envuba egambibwa okumenya amateeka ku nnyanja eya hariyaapu.

Aba mukene nga bamupakira mu nsawo okumutwala mu katale ku mwalo e Kiyindi mu disitulikiti y'e Buikwe.

Aba mukene nga bamupakira mu nsawo okumutwala mu katale ku mwalo e Kiyindi mu disitulikiti y'e Buikwe.

Okusinziira ku Dr. Lulume, disitulikiti y’e Buikwe erimu emyalo egy’enjawulo egirimu envuba y’eby’ennyanja okuli mukene, empuuta, engage n’ebirala wabula ng’okuva ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde, Minisita omubeezi ow’eby’obuvubi, Hellen Adoa lwe yasinzidde ku ssengejjero ly’amawulire ga gavumenti erya Uganda Media Centre mu Kampala n’awera mbagirawo envuba ya hariyaapu ng’agamba nti abagikozesa bavuba obwennyanja obuto ekivuddeko okukendeera kw’ebennyanja ng’empuuta mu nnyanja, amasimu agamukubirwa okuva mu bavubi n’abasuubizi ba mukene okuva ku myalo okuli Kiyindi n’e Ssenyi gasusse ekyamuwalirizza okugenda awulire okutya kwabwe n’okwemulugunya we biva.

Okwogera bino, Dr. Lulume abadde ku mwalo gw’e Kiyindi mu disitulikiti y’e Buikwe ng’asisinkanye abavubi ab’enjuyi zombi olwa mukene n’empuuta nga bano baatudde mu Victoria Gardens.

Minisita Adoa yategeeza ng’abavuba mukene nga beeyambisa ekitimba kya hariyaapu bwe bakokota ennyanja ne batwaliramu buli kye basanga mu mazzi n’agamba nti bano babadde tebakoma okwo nga bavuba n’emisana ne ku mwezi nga yategeezezza nti bano mu buli mwezi balina okuvubamu wiiki bbiri zokka ez’enzikiza olwo ku mwezi bawummule n’emisana.

“Njagala envuba enkadde ey’okuvuba okumpi n’olubalama y’eba eddawo nga beeyambisa enseno ezimanyiddwa nga chota chota. Kino kikolebwa lwa lulumirirwa nnyanja yaffe kuba bbo bannaffe abavubi babadde balyamu byabwe nga bagenda tebalumirirwa,” bwe yalambuludde.

Ono era yaweze n’abagwira abagambibwa nti babadde bangi ku mbalama nga beenyigira mu mulimu gw’okuvuba mukene nga ne kino Minisita Adoa yategeezezza nti ennyanja mu Uganda erina kuvubibwamu Bannayuganda ng’abatali batuuze ababadde beenyigira mu mulimu guno babadde bamenya mateeka.

Wabula Charles Mpiima, omuvubi era omusuubuzi wa mukene ku mwalo e Kiyindi ategeezezza nti envuba Minisita Adoa gye yabalagidde eya chota chota erimu okuvubisa obwato obutono nga buno abasikale abalwanyisa envuba embi ku nnyanja baabwasa nga bategeezezza nga bwe butakkirizibwa era baakwata ssente ne bagula amaato amanene ne bagaweera n’omulo galiko n’ennamba puleeti za gavumenti nga gano ge bakozesa okuvuba mukene mu mazzi ag’e buziba.

Mpiima agamba nti n’okuvuba munene okumpi n’olubalama minisita kye yalagidde era kikosa eby’ennyanja omuli engage n’empuuta kuba ku mbalama ne mu byondo gye bizaalira nga n’eno baabagana okuvubirayo.

Abavubi ba mukene banenya Minisita Adoa olw’okusinziira mu woofiisi e Kampala n’awuliriza bannaabwe abavuba empuuta abaakibateekako nga bwe bavuba obubi olwo bbo abavuba mukene n’atabawa mukisa kubawuliriza kye bagamba nti si kituufu.

Aba mukene nga bamupakira mu nsawo okumutwala mu katale ku mwalo e Kiyindi mu disitulikiti y'e Buikwe.

Aba mukene nga bamupakira mu nsawo okumutwala mu katale ku mwalo e Kiyindi mu disitulikiti y'e Buikwe.

“Okusalawo kwa Minisita Adoa kutwewuunyisa kuba ate ebyawerebwa olw’okuba byali bimenya mateeka ga nvuba ate ye by’akomyawo. Okuvuba okuliwo okuli mu mateeka okwandibadde kutereezebwamu obutereezebwa, olw’okuba minisita akolera ku bigambo ebimufukuutirirwa bannaffe abavuba empuuta abatatwagala ku nnyanja, ate n’atavaayo kutuwa mukisa naffe kwewozaako, yeesanze ng’ayogera bali bye baagala kuwulira sso si bituufu ebiyamba abavubi bonna abali ku nnyanja,” Isa Nabongo Ssalongo, ssentebe w’abavuba mukene n’abasuubuzi ku mwalo e Kiyindi mu Buikwe bwe yategeezezza.

Ssentebe wa Kiyindi tawuni kkanso, Fred Kaggwa agambye nti abavubi ab’emirundi ebiri okuli abavuba empuuta n’abavuba mukene bonna babeetaaga mu kitundu n’ategeeza nti ye ng’eyavubako mukene nga yeeyambisa envuba ya chota chota, bw’eba y’ezziddwawo ng’eya hariyaapu ewereddwa, kiba ng’ekitegeeza nti omulimu gwa mukene guwereddwa kuba obusobozi erina butono nnyo nga kijja kuba kizibu okugikozesa bafune mukene awera nga bwe gubadde kati nga bafuna ow’okutunda mu ggwanga ne gwe batwala ebweru w’eggwanga.

“Omulimu gwa mukene gwa nkizo nnyo, guyamba okuwa abantu emirimu nga kumpi buli lyato likolamu abantu abasoba mu 15 buli lwe ligenda okuvuba ne likomawo ne mukene omuli abavuba basatu, abamutikkula okuva mu maato, abamwanika, abamupakira mu nsawo n’okumutwala ku mmotoka ezimutwala mu katale,” Kaggwa bwe yagambye.

Yagasseeko nti “Ffe nga Kiyindi ttawuni kkanso omusolo gwe tufuna mu ba mukene mungi nnyo okugeza ku guva mu bavuba n’abasuubuzi b’empuuta. Twafunye n’abagabirizi b’obuyambi okuva mu nsi ya Iceland abaatuwadde obuwumbi bw’ensimbi za Uganda butaano ezigenda okutuyamba okuzimba akatale ak’omulembe ku mwalo wano naye nga nako kaayuweereddwa lwa mulimu ogukolebwa n’okutumbula embeera z’abakyala abeenyigira mu mulimu gwa mukene ku mwalo guno e Kiyindi.”

Harriet Nankabirwa naye yategeezezza ng’envuba eno ya mukene bw’eri ey’omuntu wa wansi era nti mukene ze nva z’omunaku ng’okutataaganya abamuvuba tekikosa bavubi na basuubuzi bokka wabula Bannayuganda abasinga obungi.

Abdul Kyandiga nga naye musuubuzi wa mukene yategeezezza nti ng’abavubi ba mukene era abasuubuzi, beetegefu okugondera ebiragiro ebiteekebwawo gavumenti kasita biba nga tebinyigirizaako ludda lumu.

Kyandiga agamba nti ab’empuuta buli eby’ennyanja lwe bibula mu nnyanja nga beekwasa bbo abavuba mukene nga tebafuddeeyo kumanya nti n’omuwendo gw’abavubi nagwo gususse obungi ku nnyanja ate nga yo teyeeyongerako bunene nga mu bano mwe muli n’abavuba mu nvuba emenya amateeka.

“Nsaba tutuule enjuyi zonna, aba mukene ne bannaffe abagagga abavuba empuuta, tukkaanye bwe kiba kyetaagisa kuyimiriza mu kuvuba okumala ebbanga eggere buli mwaka, oba mwezi gumu oba ebiri, kikolebwe naye nga ffenna tukikola sso si kunyigirizaako bavuba mukene ffekka. Ekyo kijja kuyamba nnyo ate nga kikolebwa ku lw’obulungi bwaffe ffenna si bavubi bokka naye ne Bannayuganda abasigadde bonna,” bwe yategeezezza.

Akulira ekibiina ekigatta abavubi n’abakozesa ennyanja, ekya AFALU, Godfrey Kambugu bw’atuukiriddwa ku lukomo lw’essimu akkaatirizza nti ddala kituufu Minisita yabebuzaako era ne bamutegeeza nga bwe kiri ekituufu nti envuba ya mukene eya hariyaapu abagivubisa bavubiramu obwennyanja obuto kyokka nga bamaze ebbanga nga boogera nabo naye tewali kye bakyusaamu.

Kambugu agamba nti bakkaanyizza ne Minisita eky’okuwera envuba ya hariyaapu kuba efiiriza eggwanga, ng’awakanya abavuba mukene kye babateekako nti baagala kubagoba mu nnyanja n’agamba nti si kituufu kuba okuyimiriza envuba ya hariyaapu tekitegeeza kuwera bavuba mukene ng’era minisita aliko envuba gye yalagidde y’eba etandika okukozesebwa abavuba mukene.

Dr. Lulume ng’amaze okuwuliriza abavubi, yagambye nti endowooza n’okwemulugunya kw’abavubi agenda kukubagamu ekiwandiiko akitwale mu palamenti kuba Minisita bbo ng’aba mukene teyabawa mukisa kubawuliriza ng’ayagala wateekebwewo akakiiko kawe enjuyi zonna omukisa okuwulirizibwa.

Omubaka yagambye nti mu bimu ku bavubi bye balowooza ebiyinza okutereeza embeera y’ebbula ly’eby’ennyanja mu nnyanja kwe kugimummuzaamu ebbanga eggere naye nga kino kikolebwa ku njuyi zombi olw’abavuba empuuta n’abavuba mukene nga ne kino agenda kukisoosowaza bw’anaaba ayanja ensonga eno mu palamenti.

Lulume era yalaze okunyolwa olw’abakulembera ekibiina kya AFALU olw’okukolanga ensonga zaabwe nga bbo ng’ababaka abatwala ebitundu ebiri ku nnyanja ebitwala n’emyalo egy’enjawulo nga babalese ebbali ate nga be bayinza okutuusa ensonga zaabwe mu palamenti ne zisobola okubeera ez’omuzingi n’okujjayo obulungi amakulu

Tags: