Amawulire

Ababadde beeyita aba UPDF ne babba abantu bakwatiddwa

ABASAJJA babiri abagambibwa okuba nti baludde nga beeyita abajaasi b'eggye lya UPDF , okufera n'okunyaga abantu,  bakwatiddwa ne pisito , enjingirire e Iganga.

Abakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABASAJJA babiri abagambibwa okuba nti baludde nga beeyita abajaasi b'eggye lya UPDF , okufera n'okunyaga abantu,  bakwatiddwa ne pisito , enjingirire e Iganga.

Abakwatiddwa, kuliko Derick Mugumira 30 nga muvuzi wa loole era nga mutuuze w'e Bugombe mu disitulikiti y'e Luuka, ne Wycliff Walujo 24 nga mutunzi wa dduuka ng'abeera Kasokoso mu kibuga Iganga.

Kigambibwa nti mu mwezi gwa October, Mugumira nga yeyita omujaasi ali ku ddaala lya Captain , yatuukiridde omu ku besimbyewo e Iganga ku kifo ky'omubaka wa palamenti  era n'amutegeeza nga ye bw'asula mu Senior Command and Staff College e Kimaka.

Kitegeezeddwa nti, yamugambye nga bw'alina ttiimu eyinza okumuyamba okumutuusa ku buwanguzi era nga betaaga obukadde Busatu. Oli ensonga kwe kuzitegeeza poliisi.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti , Ababiri bano , basobodde okufuna pisito enjingirire ne bagenda ku Ntinda Valley Guest House  okusisinkana eyesimbyewo basobole okufuna ssente, ng'eyo gye babakwatidde .

Tags: