EYALIKO Minisita w'ebyokwerinda Vincent Bamulangaki Ssempijja kkampeyini z'okukiikirira Kalungu East azitandikidde mu Lukaya Town Council wakati mu kuwaga n'abamu ku bawagizi be abanekedde mu ngoye eza kyenvu okubadde ebifaananyi bye n'ebya Pulezidenti Museveni naye gw';asabidde akalulu.
Bw'abadde ku kyalo Mwota, Ssempijja abaayo abakalaatidde obuwagizi obutabuwa muntu mulala yenna nti kubanga balina bebalozezaako emyaka ettaano ne batabaako kye babakolera.

Abamu Ku Bawagizi Ba Ssempijja Nga Bamulaga Obuwagizi...
Asuubizza okutandikira we yakoma mu ku bunyisa amasannyalaze mu bitundu okuli Bukulula, Lwabenge n'ewalala gye gatannatuuka n'ayogera ne ku makolero amanene agongera omutindo ku birime, okukola emmere y'ebisolo, enkoko n'ebyenyanja, ebigimusa n'ebirala.
Ategeezezza nti ng'oggyeeko okuteeka enkulaakulana mu kitundu amakolero gano bamusigansimbi be yaleese okuva e China ne bakkiriza okugazimba mu kibangirizi ky'e Bulakati, gagenda kuwa abantu bangi emirimu naddala abavubuka basobole okukyusa embeera zaabwe.

Abamu Ku Bawagizi Ba Ssempijja Nga Bamulaga Obuwagizi....
Ssempijja era ayongeddeko ku mulundi guno agenda kufuba okumatiza Pulezidenti Museveni Kalungu agiwe enguudo za koolaasi ku lw'abalimi b'emmwaanyi abazirimye mu bungi era anokoddeyo enguudo olwa Villa Maria-Gomba, Lukaya-Kagologolo ne Bukulula-Kalungu.
Ku ky'omubaka omukyala owa Disitulikiti Hellen Nakeeya amanyiddwa nga Omuyiribi akwatidde NRM bbendera naye atalaaze Lukaya Town Council abaayo n'abasaba okumwesiga bamusindike mu Palamenti kubanga obusobozi abulina obubasakirayo enkulaakulana.

Hellen Nakeeya Akwatidde Nrm Bendera Ku Ky'omubaka Omukyala Owa Kalungu Ng'asaba Akalulu