OMUSAJJA agambibwa okuba mu lukwe lw'okwokya amasiro g'e Kasubi akwatiddwa ekiro.
Joseph Sebunnya omutuuze w'a Masiro zooni e Kasubi mu munisipaali y'e Rubaga mu Kampala, y'akuumirwa ku poliisi ya Old Kampala, kubigambibwa nti bamukwatidde mu masiro ng'awalampye ekikomera.
Mu byebamukutte nabyo, mulimu ekiveera omubadde ebigambibwa okuba amafuta ga petulooli, akibiriiti, eddaala eryomuti, ne kalonda omulala .
Kigambibwa nti nga yeyambisa eddaala, yawalampye ku ssaawa kkumi nga bukya n'agwa munda nti kyokka ne basobola okumwanguyira ne bamunyweza ng'okubuuliriza kukolebwa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, yebazizza abantu babulijjo n'abo abalabirira amasiro olw'obwangu n'agattako nga bwe boongedde obukuumi mu kifo okunyweza ebyokwerinda.