WABADDEWO akasattiro omutuuze abadde atutte embuzi okulya omuddo ku ttale bwe bamusanze ng'afiiridde mu nsiko

WABADDEWO akasattiro , omutuuze abadde atutte embuzi okulya omuddo ku ttale, bwe bamusanze ng'afiiridde mu nsiko.

WABADDEWO akasattiro omutuuze abadde atutte embuzi okulya omuddo ku ttale bwe bamusanze ng'afiiridde mu nsiko
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

WABADDEWO akasattiro , omutuuze abadde atutte embuzi okulya omuddo ku ttale, bwe bamusanze ng'afiiridde mu nsiko.

Bibadde ku kyalo Mukubu Cell mu muluka gwa Muyanda mu Industrial Division mu kibuga Mbale, omutuuze Muhamad Mukhudubi 39 era nga mulimi, bw'asangiddwa ng'afiiridde mu nsiko .
Kitegeezeddwa nti omugenzi asoose kutegeeza mukyala we Sabina Matuwa nga bw'abadde agenda okutwala embuzi ku ttale, nti kyokka wayiseewo akaseera katono , ne bamusanga nga mufu kwe kutegeeza ssentebe wa LC1 mu kitundu ekyo Hakim Mafabi naye ayise poliisi.

Omwogezi wa poliisi e Mbale Rogers Taitika, ategeezezza nti okunoonyereza kugenda mu maaso era ng'omulambo, gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mbale, okugwekebejja.