OMU ku bantu abagambibwa okugezaako okulemesa poliisi okutwala abasibe, akubiddwa essasi n'atwalibwa mu ddwaaliro e Mityana.
Embeera eno ebadde ku kyalo Kasambya mu Ggombolola y'e Kakindu e Mityana, poliisi bw'ebadde akutte Swaibu Ibrahim Sennoga ne Madina Namutebi okubatwala mu kkooti nti kyokka abamu ku batuuze ne bagezaako okubalemesa.
Kigambibwa nti embeera eno, etaddewo obunkenke, abantu bwe basazeeko abasirikale nga bagezaako okubalemesa okutwala abasibe nti era mu kavuvunganano kano, omu ku batuuze John Bukenya akubiddwa ekyasi n'atwalibwa mu ddwaaliro ng'ali mu mbeera mbi.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala, Lamerk Kigozi, agambye nti bali mu kuyigga abo bonna ababadde emabega w'ekikolwa kino era n'alabula abatuuze okukomya okulemesa abasirikale nga bakola emirimu gyabwe.