Abantu 37 abagambibwa okuba abamenyi b'amateeka, be bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi n'amagye mu Kampala.
Abamu ku bakwatiddwa
Kikoleddwa mu bitundu omuli Kira division , Kajjansi ne Kira Rd.
Mu Kiyinda, Bulindo, Kiwologoma, Lweza, Nakigalala, Seguku, Kulambiro ne Ttuba.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti bazudde ebintu ebiwerako omuli enjaga, ebyuma ebyeyambisibwa mu kumenya n'ebintu ebirowoozebwa okuba ebibbe. Agasseeko nti okubasunsulamu kugenda mu maaso