Amawulire

Aba Uganda Law Society bavumiridde engeri ensonga z'etteeka ly'obwetengereze bwezaakwatibwamu

EKIBIINA ekigatta Bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society kivumiridde engeri etteeka ery’obwetengereze eryakayisibwa Palamenti nga kigamba nti ly'akolebwa mu mutima mubi era ligenda kuleetera Bannayuganda okubonabona.     

Anthony Asiimwe ku ddyo ng'ayogeramu ne Babu Ssali mu lukungaana lwa Bannamawulire
By: Emmanuel Ssekaggo, Journalist @New Vision

EKIBIINA ekigatta Bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society kivumiridde engeri etteeka ery’obwetengereze eryakayisibwa Palamenti nga kigamba nti ly'akolebwa mu mutima mubi era ligenda kuleetera Bannayuganda okubonabona.
Bino byogeddwa amyuka Pulezidenti w’ekibiina kino Anthony Asiimwe ku mu lukungaana lwa Bannamawulire bwebatuuziza ku kitebe kyabwe ku Acacia Avenue mu Kampala. Asiimwe agambye nti   Singa etteeka lino linaatandika okukola, Bannayuganda  bangi bagenda kukosebwa nnyo naddala mu by’enfuna.
Ayongeddeko nti etteeka lino ligenda kulemesa abantu bangi okubaako obuwereza bwebatuusa mu Bannayuganda naddala bwebabadde bafuna mu bibiina bya bannakyewa ekigenda okuleetera Bannayuganda okubonabona wamu ne Gavumenti yennini okufiirwa omusolo.
Alangiridde nti ekibiina kya Bannamateeka kitandise kawefube wa kunoonya ssente obuwumbi 2 n’obukadde 300 nga zino za kweyambisibwa kusomesa Bannayuganda ku bulabe bw’etteeka lino era basobole okuliwakanya mu mateeka.
Ezimu ku ssente zino zigenda kweyambisibwa mu kuteeka ebirango ku ttivvi ne lediyo, okukuba enkugaana ez’enjawulo wamu n’okubayambako Bannateeka abajja okutwala omusango guno mu kkooti okuwakanya etteeka lino.
Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa Uganda Law Society nga kiriko omukono gwa Pulezidenti w’ekibiina kino Isaac Ssemakadde, kyalaze nti amaka mangi agabadde gaganyulwa mu ssente eziva ebweru w’eggwanga bagenda kufuna okusoomozebwa bwatyo n’asaba Bannayuganda okwegatta ku Bannamateeka mu lutalo lw’etteeka lino lwebalimu eggwanga lisobole okuva mu ‘kkomera’ ly’agamba nti ababaka baalyesibiddemu.

Tags: