Olumbe lw'omutandisi w’amasomero erya St. Lawrence Ssonde Namugongo lwabiziddwa

MINISITA avunaanyizibwa ku byobulamu n'ebyenjigiriza mu Bwakabaka bwa Buganda, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma yennyamidde olw'omuwendo gw'abalenzi abali wakati w'emyaka 25 ne 35 abeeyongedde okufuuka ba ssekibotte abatakyagala kuwasa.

Fr. JohnBosco Sserumagga eyakulembeddemu Mmisa ng'asibirira entanda omusika wa Joseph Kiwanuka Balikuddembe ,Paul Nsanja ne lubuga we.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Olumbe #lwabiziddwa #mutandisi #St. Lawrence Ssonde Namugongo

Bya Ponsiano Nsimbi

MINISITA avunaanyizibwa ku byobulamu n'ebyenjigiriza mu Bwakabaka bwa Buganda, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma yennyamidde olw'omuwendo gw'abalenzi abali wakati w'emyaka 25 ne 35 abeeyongedde okufuuka ba ssekibotte abatakyagala kuwasa.

Bino yabyogeredde mu kwabya olumbe lw'eyali kaminsona w'ebyenjigiriza mu Buganda, Joseph Kiwanuka Balikuddembe omu ku batandisi b’amasomero erya St. Lawrence Ssonde Namugongo S.S ne St. Annes Grace Nakifuma S.S era eyaliko omukulu waago mu maka g'e Salaama mu munisipaali y’e Makindye.

Yagambye nti abavubuka enkola eno be bavuddeko omuwendo gw'abasajja abatakyalina buvunaanyizibwa okweyongera era n’awa abazadde  amagezi okugunjula abaana abalenzi nga bw ebakola ku baana abawala.

Yawadde Nnamwandu Betty Kiwanuka ne bamulekwa amagezi okukuuma ebyama kibayambe okubaako bye bagussa.

Nnamwandu Betty Kiwanuka Ku Ddyo ,muwala We N'abooluganda Abalala Nga Batwala Ebirabo Mu Mmisa Y'okwabya Olumbe Lwa Kiwanuka.

Nnamwandu Betty Kiwanuka Ku Ddyo ,muwala We N'abooluganda Abalala Nga Batwala Ebirabo Mu Mmisa Y'okwabya Olumbe Lwa Kiwanuka.

Bafaaza Nga Bakulembeddwamu Fr.johnnbosco Kiggundu Nga Bakola Omukolo Ogw'okuziika Kiwanuka.

Bafaaza Nga Bakulembeddwamu Fr.johnnbosco Kiggundu Nga Bakola Omukolo Ogw'okuziika Kiwanuka.

Oluvannyuma ono yasomye obubaka b'omumyuka wa Katikkiro asooka Polof.Twaha Kigongo Kaawaase eyakubirizza bonna abalina akakwatte ku nju ya Kiwanuka okukuuma obumu, n'okwewala abantu abaagala okubaawula n'okubatabula nga beefuula mikwano gyabwe.

Yabakubirizza okukuuma erinnya n'ekitiibwa kya Kiwanuka bye yakolerera ng'akyali mulamu era n'akubirizza bamulekwa okunyiikira okusoma.

Mmisa  yakulembeddwaamu Fr.John Bosco Sserumagga, omumyuka w’akulira leediyo Maria ng'ayambibwako bafaaza abalala, ng'ono yakuutidde omusika John Paul Nsanja okunywerera ku Katonda n'okutwala mu maaso ebirungi byonna bye yalabira ku kitaabwe.

Omugenzi Kiwanuka Nga Bweyali Afaanana

Omugenzi Kiwanuka Nga Bweyali Afaanana

Ku Kkono Eyali Omukulu W'essomero Lya Nabbingo Cotilda Nakate ,omusika Paul Nsanja Ng'abuuza Ku Minisita Proseperous Nankindu, Nnamwandu Kiwanuka Ne Mulekwa Grace Anne Nakatudde

Ku Kkono Eyali Omukulu W'essomero Lya Nabbingo Cotilda Nakate ,omusika Paul Nsanja Ng'abuuza Ku Minisita Proseperous Nankindu, Nnamwandu Kiwanuka Ne Mulekwa Grace Anne Nakatudde

Yamukuutidde okubeera omukulembeze omulungi eyeefuga era eyeegerera , omumativu era akumaakuma abalala era yeewale okubeera omufuzi agenda okufufugaza abalala n'okutunda eby'obusika.

Omukolo gwetabiddwaako abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo, abakulu b’amasomero n'abasomesa, abayizi abaayitako mu massomero gano, ng'omusika Nsanja yeeyamye okutwala mu maaso emirimu gya kitaabwe n'okukuuma erinnya lya famire.

Kiwanuka yafa mu June wa 2021 mu biseera byanaawokera wa covid 19 era abantu abasinga tebasobola kumuziika nga wasooseewo akaseera ak'enjawulo akokola omukolo ogw'okuziika ng'abantu baganzika ebimuli awabadde wateereddwa ekifaananyi kye.