ABAANA b’omugenzi Zakaria Bukenya Ssajjabi eyali omutuuze w’e Kyanja mu Nakawa bulumiza kitaabwe ne ssenga bwe okwekobaana n’abamu ku baganda baabwe okwezibika emmaali y’omugenzi.
Nga bakulembeddwa Halimah Namatovu, balumiriza kitaabwe Dauda Kamya okukukuta n’abamu ku baganda be n’abaawulamu ekimutuusizza n’okubatwala mu woofiisi y’addukanya emmaali y’abagenzi okugifunako obwannannyini nga tebakimanyiiko.
Yategeezezza nti amawulire g’okwezza emmaali yaabwe, baagalabye mu mpapula z’amawulire nga zooleka Rashidah Nalubega ne Twaha Bukenya basaba okubeera bannannyini ttaka lya kitaabwe nga baayitidde mu kkooti enkulu e Wakiso ku ffayiro 109/2025 era ekiwandiiko kiraga nti bwe wayitawo ennaku 14 nga teri alitaddeko nvumbo bano lyakubeera lyabwe.
Namatovu agamba, kino kiva ku kitaabwe Kamya ne ssenga Hajati Lukia Namatovu abaatondawo ebiwayi mu ffamire ne basalawo okukolagana ne bano. Yagambye nti bano baali bagezaako n’okulemesa okwabya olumbe lwa kitaabwe era tebaalinnyayo kwossa ne baganda baabwe bano kyokka eky’ewunyisa, baagala kuntunda bintu bya mugenzi.
Yayongeddeko nti, eggulolimu ng’olumbe lugenda kwabizibwa, Kamya ekiraamo kye yaleeta kyali kyozeemu (photocopy) kyokka bwe baamusaba ekyaddala n’agamba nti takirina kyamubulako newankubadde yeetema engalike n’akireeta nga wayise emyaka etaano bukya kitaabwe afa mu 2019.
Olw’okuba omugenzi yamala emyaka 10 ku ndiri, Namatuvu agamba nti kyaliba nti we baatandikira okudobonkanya emmaali yaabwe.
Kigambibwa nti Kamya yanyiiga oluvannyuma lw’okukunyizibwa abaana ebbanga okuleeta ekiraamo ekituufu nga watandise n’okuvaayo amaloboozi agamuyita omufere, ono era kiteeberezebwa nti olwaleeta ekituufu mu 2024 yasaba abaana okumwetondera n’azira okwabya olumbe lwa muganda we.
Abaana kigambibwa baamuwandiikira ebbaluwa emwotondera nti “Kitaffe bwe waba nga waliwo ebyakunyiiza ekiseera kino kyonna tusaasire naye okwabya olumbe kugende mu maaso.” Ono yabaanukula ng’ayagala bawandiike nga bagamba nti ebbaluwa gye twakuwandiikira mu nnaku bwe ziti tugisazaamu okutuuka ku yasembayo. Mu bbaluwa zino baali bamusaba kiraamo kituufu okumala emyaka etaano.
Namatovu agamba nti ekisinga okubeewunyisa, kwe kuba nga Kitaabwe Kamya yeekutte ne Ssenga bwe ne baganda be babiri ne batuuza olukiiko mwe baasinzidde okuyisa ekiteeso ky’okufuna obwannanyini ku mmaali y’omugenzi nga bbo abana (4) basuuliddwa.
Muzeeyi Dauda Kamya yasambazze eby’ogerwa Namatovu n’agamba nti ye muganda w’omugenzi tasobola kukola ekyo n’ategeeza nti bbo baalina ettaka e Bulemeezi ne Zakaria era buli mwana n’agabana omuli ne kitaabwe era basalawo okulitunda.
Yagambye nti omugenzi bwe yatabuka omutwe, ‘twamusalirako ewuwe naye baagana okuliwa abaana olw’okuba baagaana okutegeeragana kyokka n’awakanya eky’okwekobaana n’abamu ku baana okwezza emmaali y’omugenzi.
Yategeezezza nti Twaha ne munne baaliba nga be bakola ebyo ye tabiriimu. Yagambye nti n’ekyokwabya olumbe ng’Owoluggya yali akigaanyi olw’okuba waabulawo okukwatagana mu baana n’akomekkereza nti abamulimirira baaliba banoonya byabwe.
Twagezaako okutuuza abaana abo okutegeeragana kyokka ne beerema olwo ne beeyawulamu ebiwayi bibiri okuli ekimu ekiri ewange eky’abasatu n’abalala abakaayana ku baana mukaaga omugenzi be yaleka. Muzeeyi Kamya bw’agamaba.
Yagambye nti n’ekiwandiiko ekiri mu mawulire tannabirabako wabula bukedde yakirabyeko nga kiraga nga Twaha Bukenya ne mwannyina Rashida Nabukeera basaba okubeera bannanyini mmaali ya kitaabwe kyokka abalala okuli Halimah Namatovu, Rehemah Nakanwagi, Muhammed Lubega (omusika) ne Hadijah Nabukeera bakiwakanya nti tebaateegezebwako ku nsonga eno ne balumiriza kitaabwe Kamya ne ssenga bwe Lukia okukola kino.