Ab'Endiga basonda zakuzimba kkaddiyizo

OMUKULU w’ekika ky’endiga, Omutaka Eria Buzaabo Lwasi okunze bazzukkulu be bonna okwetaba mu nteekateeka z'ekijjulo ky'okusonderako ssente z'okuzimba ekkadiyizo ly'ebyafaayo by'ekika eryabuddwamu Kibuuka Omumbaale.

Akulira ekika ky'Endiga Eria Buzaabo Lwasi ng'ali n'owekitiibwa Sarah Nkonge
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

OMUKULU w’ekika ky’endiga, Omutaka Eria Buzaabo Lwasi okunze bazzukkulu be bonna okwetaba mu nteekateeka z'ekijjulo ky'okusonderako ssente z'okuzimba ekkadiyizo ly'ebyafaayo by'ekika eryabuddwamu Kibuuka Omumbaale.

Ekijjulo kino kyakubeerawo nga July 18,2025 ku  woteeri Africana mu Kampala ng’ensimbi ezinasondebwa zigenda kweyambisibwa mu mulimu guno ogwetaaga obukadde 650 okumalirizibwa.

Lwomwa yasinzidde mu lukiiko lw’ekika kino olwabadde ku ofiisi zaabwe ezisangibwa okuliraana ennyanja ya Kabaka e Ndeeba.

 

Omumyuka wa Katikkiro w'ekika, Paul Kiyingi Luwombo yeebazizza bonna abeetabye mu kusonda ensimbi z'ekijjulo saako bazzukkulu ba Lwomwa olw'okukyaza Omutaka Lwomwa mu Ssaza Kyadondo obulungi bwatyo n'asaba n'abali mu Masaza amalala okweteekateeka.

Dr. Sarah Nakatudde Nkonge omu ku bateesiteesi b'ekijjulo yategezezza ng'enteekateeka y'okuzimba Myuziyamu, bwenamalirizibwa ejja kubeera kyakulabirako eri ebika ebirala ate n'okutondawo emirimu mu bavubuka.

Mu ngeri y’emu, Ekika kigenda kwaabya Olumbe lw’eyali Lwomwa Ying. Daniel Bbosa nga  lwakusulwaamu ku lwa August 29,2025 ate omusika alagibwe eri abantu nga August 30,2025 mu maka ge e Lungujja mu ggombolola ye Lubaga mu Kampala.