Okwewandiisa okuvuganya mu nnyimba z’Abajulizi kwongezeddwaayo

Nsalessale wa kkwaaya ezinaayimba ennyimba z’Abajulizi ayongezeddwaayo okutuuka ku Mmande nga May 19, 2025.

Tukahirwa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Nsalessale wa kkwaaya ezinaayimba ennyimba z’Abajulizi ayongezeddwaayo okutuuka ku Mmande nga May 19, 2025.
Akulira ebyakitunzi mu kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde, Lorraine Tukahirwa yategeezezza nti kino kivudde ku kusaba okw’enjawulo okuva mu kkwaaya n’abantu ssekinnoomu nga baagala okwongezaayo ekiseera ky’okwewandiisa. “Twafunye okusaba okuva mu bantu ab’enjawulo okwongezaayo nsalessale w’okwewandiisa eraolw’okuba twagala ebikujjuko by’ennyimba z’Abajulizi ebinyuvu,
twasazeewo okwongezaayo okwewandiisa,” Tukahirwa
bwe yagambye.
Ennyimba z’Abajulizi zigendereddwaamu kugatta Bakrisitu nga bajaguza olunaku  lw’Abajulizi omwaka guno e Namugongo.
“Nga twetegekera ebikujjuko by’Abajulizi omwaka guno (nga June 3), okuvuganya
kwa kkwaaya ez’enjawulo mu nnyimba z’Abajulizi kutuyambye okwongera ebbugumu mu nteekateeka eno,” Bp. Godfrey Loum ow’obulabirizi bw’obukiikakkono bwa Uganda era nga ye ssentebe w’akakiiko akategesi k’olunaku lw’Abajulizi ku lud- da lw’Abakristaayo bwe yawaanye omulimu ettendo ogw’ennyimba zino.
Ne Fr. Titus Winyi ow’ekigo y’e Virika mu Fort Portal yagambye nti ennyimba z’Abajulizi zirinnyisa obukkiriza mu bantu ba Katonda. “Nkubiriza bakkiriza bonna okwenyigira mu nteekateeka eno. Obukiriza tebutuulwako, tulina okubusaasaanya era bwe twenyigira mu nnyimba zino, tuba tujaguza Abajulizi ba Uganda,” Fr.
Winyi bwe yagambye.
Kkwaaya ez’enjawulo mu Bakatoliki n’abakristaayo, zaakulwanira ssente obukadde 36 nga fayinolo esuubirwa okubaawo nga May 31 ku wooteeri ya Serena mu
Kampala.
Okwewandiisa, buli kkwaaya erina okwekwata kavidiyo ku ssimu akatasussa ddakiika 3 ng’eyimba.
Akatambi bakasindike ku WhatsApp nnamba: 0776877528 nga
 uliko erinnya lya kkwaaya, Ekkanisa oba Klezia mw’eyimbira n’ekitundu gy’esangibwa ssaako reference number eya Mobile Money kwe basasulidde. Aba Airtel munyige
*185*9#1175850, oteekewo omuwendo gwa ssente (100,000/-), n’erinnya lya kkwaaya nga reference. Ate MTN, onyiga *185*4#, n’ogenda ku payment, goods and services, merchant code NV3, omuwendo gwa ssente ne mu customer reference n’ossaamu erinnya lya kkwaaya