Okukuza Amatikkira ga Kabaka aga 32; Abasodokisi bawonze Kabaka eri Katonda olw’okuweza emyaka 32 ku Nnamulondo

SSAABASUMBA w’Eklesia y’Abasodokisi mu Uganda, Metropolitan Jeronymos Muzeeyi yeebazizza Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okusigala mu buufubwa Bajjajjaabe ng’awagira emirimu gya Eklesia y’Obusodokisi Yali Ssekabaka Daudi Chwa II eyawagira ennyo Basajjabe abaafuuka Bp. Spartas Ssebbanja

Okukuza Amatikkira ga Kabaka aga 32; Abasodokisi bawonze Kabaka eri Katonda olw’okuweza emyaka 32 ku Nnamulondo
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

SSAABASUMBA w’Eklesia y’Abasodokisi mu Uganda, Metropolitan Jeronymos Muzeeyi yeebazizza Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okusigala mu buufu
bwa Bajjajjaabe ng’awagira emirimu gya Eklesia y’Obusodokisi Yali Ssekabaka Daudi Chwa II eyawagira ennyo Basajjabe abaafuuka Bp. Spartas Ssebbanja
Mukasa ne Munne Fr. Obadiah Kabanda Basajjakitalo, abaanoonya Obusodokisi era ne
babuleeta kuno n’okutuusa leero ng’Obwakabaka bukolagana n’Eklesia mu bintu bingi,” Metropolitan Muzeeyi bwe yagambye.
Bino yabyogeredde mu mmisa y’okuwonga Ssaabasajja Kabakaeri Omutonzi mu kiseera  kino ng’Obuganda bujaguza nga bwe  gigenda okuwera emyaka 32
Kampala.
Ssaabasumba Muzeeyi eyayambiddwaako Fr. Emmanuel Kiwanuka  era yeebazizza Katonda akozesezza Kabaka Mutebi II ekibuga ekirungi n’amugeraageranya ku Ssekabaka wa Roma Constantine eyakkiriza Abakrisitaayo okusinza kyere n’azimba n’ekibuga Constantinople ku musingi gw’eddiini n’ebirala bingi eby’Obwakatonda.
Mu Mmisa eno, Obwakabaka bwakiikiriddwa Minisita w’amawulire n’okukunga abantu
era omwogezi Israel Kazibwe Kitooke eyatuusizza obubaka bwa Katikkiro wa Buganda,
Charles Peter Mayiga ne yeebaza Eklesia olw’okusabiranga Kabaka n’Obwakabaka entakera. Ku lulwe, Minisita Kazibwe yeebazizza Eklesia olw’okukwatira ku Bwakabaka okutumbula ebyobulamu, okuteekawo embeera eyambye okutumbula ebitone by’abavubuka okuyita mu mizannyo ate n’okugunjulira eggwanga
abaana abalina empisa.
Mu kusaba kuno, essaala ewonga Kabaka eri Omutonzi yasomeddwa Ssaabasumba Muzeeyi n’okwegayirira okuva mu Bakkiriza.
Mmisa yeetabiddwaamu abakungu bangi omwabadde n’Omutongole w’e Namungoona
Samuel Sseggujja n’abalala. Emikolo emikulu egy’Amatikkira ga Kabaka aga
32 gigenda kubeera ku Muzikiti omukulu e Kibuli nga July 31, 2025.
Ssekabaka Muteesa I. Ssekabaka Mwanga. bukya atuula ku Nnamulondo ya
Buganda nga yabadde ku Lutikko y’Abasodokisi e Namungoona mu