MINISITA avunaanyizibwa ku kikula ky'abantu Betty Amongi attenderezza bannabizinensi olw'okuyambako gavumenti mu kuwa bannansi emirimu nga bayita mu kutandikawo amakolero agatali gamu.
Yategeezezza nti kino kiyambyeko nnyo mu kukendeeza obumenyi bw'amateeka naddala mu bavubuka olw'ensonga nti balina eby'okukola bw'atyo n'akuutira Bannayuganda bulijjo okuwagira ebintu ebikoleddwa kuno mu nkola ya Buy Uganda, Build Uganda.
Bino Minisita yabyogeredde ku mukolo gw'okusiima bannabizinensi abatadde ettoofali eddene ku by'enkulaakulana y'eggwanga saako n'okubeera ab'enkizo mu nzirukanya y'emirimu ng'omukolo guno gwayindidde mu Kampala era ne gutegekebwa aba 'People's Choice Quality Awards 2025 ' . Minisita Amongi ye yabadde omugenyi omukulu.
Kkampuni ezaasobye mu 100 ze zaasiimiddwa era ne ziseebwa engule.
Aba kkampuni ya Reckitt Brands bano baaweereddwa awaadi za mirundi 3 bwe banywedde olw'endo mu bannaabwe mu kukola ebintu ebiri ku mutindo ddala okwabadde ssaabbuuni w'amazzi ayoza engoye owa Jjiiki , ssaabbuuni wa 'Dettol' ne Mortein Doom , aba kkampuni ekola eby'okulya eya Indomie nabo baaweereddwa awaadi.
Kkampuni ya Horeb- Services Uganda Limited etwala abantu ebweru okukuba ekyeyo ye yasinze zinnaayo mu kufunira Bannayuganda emirimu mu nsi z'ebweru era nga agikulira Ezra Mugisha okusinga yeebazizza Gavumenti olw'okubawa omwagaanya okuweereza bannansi.
Mugisha yategeezezza nti okuva mu 2007 okutuuka leero basobodde okutwala abantu abasoba mu mitwalo 4 mu mawanga agenjawulo okukola .
Kyokka yagambye nti bakyalina okusomoozebwa olw'abo abeerimbika mu mulimu gwabwe ne babba ssente ku bantu babasuubizza okubatwala okukola kyokka ne batabatwala so nga ate abalala babatwala mu ngeri ey'okubakukusa ne babonaabonerayo.
Kkampuni endala ezaasiimiddwa kwabaddeko ey'amagye g'eggwanga nga'no y'ekola amazzi ekika kya Uzima Natural Mineral Water.
Maj. Edgar Akwasa akulira UZIMA yeebazizza olw'okusima omulimu omunene gwe bakola n'ategeeza nti bo nga ab'eggye ly'eggwanga baakugenda mu maaso n'obuyiiya obwenjawulo ku lw'enkulakulana y'eggwanga.