Amawulire

Obwenzi mu akeedi z'e Masaka butiisa

GWE abadde akyatenda obwenzi obuli mu akeedi za Kampala, Bukedde bwe yawandiikako gye buvuddeko, oli ku bikadde!

Obwenzi mu akeedi z'e Masaka butiisa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

GWE abadde akyatenda obwenzi obuli mu akeedi za Kampala, Bukedde bwe yawandiikako gye buvuddeko, oli ku bikadde!

Bw’onoomanya ebiri mu akeedi z’ekibuga kya Mmeeya Florence Namayanja hhamba ekya Masaka mu Buddu, ojja kutya ensi.

Eno abakazi abakolera mu akeedi ebbula lya bakasitoma baasalawo kulijjuuliriza nga beenyigira mu bikolwa by’obwenzi. Abasajja be bakola nabo obwenzi ba bika byonna okuviira ddala ku ba bodaboda, ababasitulirako emmaali yaabwe okutuuka ku bagagga abava mu disitulikiti ez’enjawulo ababa bazze mu Masaka okulya obulamu.

Okwawukanako ne Kampala gy’osanga nga akeedi ezisinga ziriraanaganye era nga kyangu okufuluma emu n’oyingira endala nga totegedde, e Masaka ezaayo zeesudde amabanga. Bizinensi ezisinga okutambula mwe muli okutunda engoye, ebikozesebwa mu masomero, saluuni ssaako abatunga engoye.

Okunoonyereza Bukedde kwe yakoze kulaga nti abakazi abamu bizinensi zino ziringa ndagiriro (address) abasajja we babasanga, ate abalala bazikozesa nga kamasu kwe bafunira bakasitoma abasajja ababaganza ne babawa ne ssente z’okweyimirizaawo n’okusasula lenti.

Waliwo n’abakola obwenzi n’abasajja be bakola nabo ku akeedi era ab’ekika kino tebabawa bingi, abasinga babawa kyamisana oba ekyenkya, olwo omukazi n’amujjulira oluwombo lwe!

Akeedi eziri mu kibuga Masaka kuliko; Muto Plaza, Twin Tower, Kamaggwa House, Kayondo Plaza, City View ne Kiwummulo.

Okumanya ensonga y’obwenzi ekutte akati mu Masaka, abasajja abamu batuuka n’okugaana bakazi baabwe okukolera ku akeedi ezimu nga bagamba nti abakazi baakwo bamanyiddwa okwenyigira mu bwenzi nga babatya okuboonoonera bakazi baabwe.

Waliwo omukyala omu eyategeezezza nti yava mu busomesa okuyingira okusuubula engoye naye bwe yategeeza ku bba n’amuwa akakwakkulizo k’obutapangisa ku akeedi emu ng’agamba nti abakazi abakolerako bamanyiddwa okwenyigira mu bwenzi.

Tags:
Mmeeya Florence Namayanja
Masaka
Buddu