Amawulire

Ekibuga Masaka kitongozza okusasulira kasasiro

ABAKULEMBEZE mu kibuga Masaka batongozza enkola y’abantu okusasulira kasasiro n’ekigendererwa eky’okusitula omutindo gw’obuyonjo. Mmeeya Florence Namayanja bwe yabadde ayogera ku mukolo kwe baatongolezza kkampuni z’obwannannyini ebbiri ezigenda okukuhhaanyanga kasasiro mu kibuga, yategeezezza nti babadde n’akaseera akazibu okuzifuna. Kkampuni ezaatongozeddwa kuliko; eya YAMAC ne TUMACAS. Yasabye Bannamasaka okwaniriza enkola eno empya kuba ebibuga ebisinga ebyasuumuusibwa okufuuka ‘city’ byagitongoza dda era omutindo gw’obuyonjo mu bitundu ebyo guli waggulu.

Michael Mulindwa owa Nyendo - Mukungwe ne mmeeya Namayanja (owookubiri ku ddyo) nga bakwasa Male owa YAMAC endagaano y’okuyoola kasasiro.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABAKULEMBEZE mu kibuga Masaka batongozza enkola y’abantu okusasulira kasasiro n’ekigendererwa eky’okusitula omutindo gw’obuyonjo. Mmeeya Florence Namayanja bwe yabadde ayogera ku mukolo kwe baatongolezza kkampuni z’obwannannyini ebbiri ezigenda okukuhhaanyanga kasasiro mu kibuga, yategeezezza nti babadde n’akaseera akazibu okuzifuna. Kkampuni ezaatongozeddwa kuliko; eya YAMAC ne TUMACAS. Yasabye Bannamasaka okwaniriza enkola eno empya kuba ebibuga ebisinga ebyasuumuusibwa okufuuka ‘city’ byagitongoza dda era omutindo gw’obuyonjo mu bitundu ebyo guli waggulu.
Mu ngeri yeemu Namayanja asabye abaweereddwa obuvunaanyizibwa buno obutakulembezakufuna magoba mu mulimu guno wabula obuweereza n’abakuutira okukolagana obulungi n’abakulembeze b’ebitundu awamu n’abantu be bagenda okuweererezaamu. Musa Mabeeri, atwala ebyobulamu mu kibuga yategeezezza nti endagaano eyateereddwaako emikonoyaakumala emyezi mukaaga nga kkampuni zombi zigezesebwa. Era yagambye nti kikakata ku buli mukozi wa kkampuni ezo okwambala yunifoomu bw’aba ku mulimu kiyambeko okumwawula ku bantu abalala n’abafere abayinza okwerimbika mu by’okuyoola kasasiro ne babba abantu.

Tags: