Amawulire

Engabanya y’emidaala mu katale k’e Masaka etabudde abasuubuzi

WABALUSEEWO obutakkaanya mu basuubuzi b’ebirime abakolera mu katale ka Masaka Central Market. Obuzibu buvudde ku ngabanya y’emidaala mu katale kano akapya akaakwasiddwa abakulembeze b’ekibuga Masaka mu butongole wiiki ewedde.Eggulo abakozi b’ekibuga ab’ebyekikugu, bannabyabufuzi n’abakulembeze b’abasuubuzi lwe baatandise enteekateeka y’okugabira abasuubuzi emidaala. Baatandise n’ab’ebirime.

Akatale k’e Masaka akapya akaazimbiddwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

WABALUSEEWO obutakkaanya mu basuubuzi b’ebirime abakolera mu katale ka Masaka Central Market. Obuzibu buvudde ku ngabanya y’emidaala mu katale kano akapya akaakwasiddwa abakulembeze b’ekibuga Masaka mu butongole wiiki ewedde.
Eggulo abakozi b’ekibuga ab’ebyekikugu, bannabyabufuzi n’abakulembeze b’abasuubuzi lwe baatandise enteekateeka y’okugabira abasuubuzi emidaala. Baatandise n’ab’ebirime.
Wabula obutakkaanya bwatandikiddewo ng’abamu beemulugunya ku bifo emidaala egibaweereddwa gye giri nga bagamba nti tebaaweereddwa gya ku mwanjo.
Denis Jjemba, omu ku basuubuzi bano yategeezezza nti okuva ku ntandikwa baategeezebwa nti okufuna emidaala kugenda kuba kwa kukuba kalulu, buli muntu afune omudaala okusinziira ku nnamba gy’anaaba alonze.
Kyokka ekyabaggye enviiri ku mutwe, kwe kulaba ng’ate enkola ey’akalulu bagivuddeko bo ne bakasukibwa ewala bakasitoma gye batatuuka mangu.
Yayongeddeko nti enkola eyagobereddwa nkyamu kuba ekontana n’amateeka agagobererwa gavumenti ez’ebitundu mu kugaba emidaala mu butale obuzimbiddwa gavumenti.
Abaaweereddwa emidaala emisava, eby’okukuba akalulu baabigaanye nga bagamba nti bamativu.
Benon Ssengooba yategeezezza nti enkola eyagobereddwa ey’okusoosowaza abaludde mu katale y’entuufu. Yagasseeko nti bo ng’abaludde mu katale balabye ebizibu bingi noolwekyo ky’ekiseera bakungule.
Yagambye nti olw’obunyiikivu bwabwe, gavumenti kye yava esalawo okubazimbira akatale akapya.
Vincent Ssentongo, ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku buweereza bwa gavumenti ez’ebitundu mu kibuga Masaka (social service committee) ate nga ye kkansala akiikirira abaliko obulemu ku lukiiko lwa Masaka City eyakuliddemu entegeka eno, yategeezezza nti enteekateeka eyagobereddwa nnambulukufu.
Yasabye abasuubuzi okwewala ababakumamu omuliro wabula batandike okukola.
Kkansala Jane Francis Nabukenya eyakiikiridde mmeeya Florence Namayanja yategeezezza nti enkola egobererwa mu kugaba emidaala erambikiddwa bulungi era yeerina okugobererwa.

Tags: