Amawulire

Obwakabaka bwa Buganda bwongedde okunyweza enkolagana n'ebibiina ebirwanyisa mukenenya

OBWAKABAKA bwa Buganda bwongedde okweyama okulwanyisa mukenenya okulaba ng'abaana abato tebakyamufuna,abawala nga babeera mu masomero okutuusa lwebamaliriza emisomo ate n'okuggyawo emize okuli okusonga ennwe n'okusosola abalina akawuka ka mukenenya.  

Haji Kaawase ne Jacqueline Makokha e Bulange Mmengo
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

OBWAKABAKA bwa Buganda bwongedde okweyama okulwanyisa mukenenya okulaba ng'abaana abato tebakyamufuna,abawala nga babeera mu masomero okutuusa lwebamaliriza emisomo ate n'okuggyawo emize okuli okusonga ennwe n'okusosola abalina akawuka ka mukenenya.

Obweyamo buno buwereddwa Omumyuka asooka owa Katikkiro era Minisita avunanyizibwa ku buyiiya,tekinologiya n'entambuza y'emirimu mu Bwakabaka, Polof. Twaha Kaawaase bwabadde ayaniriza Omukungu atwala ekitongole Kya UN-AIDS (ekirwanyisa mukenenya mu nsi yonna) mu Uganda,Jacqueline Makokha azze okwongera okunyweza enkolagana y'enjuuyi zombi mu kulwanyisa mukenenya.

Jacqueline Makokha, Twaka Kaawase ne minisita Nankindu Kavuma

Jacqueline Makokha, Twaka Kaawase ne minisita Nankindu Kavuma

Omwaka oguwedde Polof. Kaawaase yakikkirira Obwakabaka mu lukung'aana lwa mukenenya ng'era gyeyalambululira ebyo Buganda byezze ekola mu myaka egiyise okulwanyisa mukenenya era ng'ekola y'okukozesa emisinde,ebika n'amasaza yewunyisa nnyo abantu bangi baasubiza okugikopa.

Makokha ategeezezza nga bwebali abasanyufu n'engeri Obwakabaka gyebukutemu kaweefube w'okulwanyisa mukenenya nga Kati akendeedde ebitundu 54 ku buli 100 ate n'amawulire agasasaana ku bulwadde buno nga gali mu bitundu 90 ku 100.  Makokha agambye nti enkolagana n'Obwakabaka evuddemu ebibala bingi era baakugenda mu maaso nayo ssaako n'okubasakira bannamikago bebalinako enkolagana okutumbula enkulaakulana ezingiramu n'ebyobulamu.

Ye Minisita w'ebyobulamu mu Buganda Dr. Prosperous Nankindu Kavuma ategeezezza ng'ekikolwa Kya Unaids okwebaza emirimu egikoleddwa Obwakabaka mu kulwanyisa obulwadde buno bwekigenda okubongera amaanyi.

Gyebuvuddeko Kabaka yasiimye okwongerayo emyaka esatu ng'akozesa amazaalibwa ge okusasanya amawulire agakwata ku kulwanyisa mukenenya.

Emisinde gy''amazaalinwa ga Kabaka gyakubeerawo nga April 16,2023 mu Lubiri e Mmengo wansi w'omulamwa ogugamba nti 'Abaami tubeere basaale mu kulwanyisa mukenenya omwaka 2030 wegunatuukira okutaasa omwana omuwala"
Ensisinkano eno yetabiddwamu Omukungu avunanyizibwa ku by'Obulamu mu Bwakabaka, Rebecca Zawedde

Tags: