Amawulire

Oluguudo oluva e Mityana okudda e Mubende luzzeemu okukolebwa

OLUGUUDO oluva e Mityana okudda e Mubende  olubadde lututte ekiseera nga kontulakita yaluvaako luzzeermu okukolebwa.

Minisita Katumba Wamala ng'alambula oluguudo olw'ogerwako
By: Samuel Balagadde, Journalists @New Vision

OLUGUUDO oluva e Mityana okudda e Mubende  olubadde lututte ekiseera nga kontulakita yaluvaako luzzeermu okukolebwa .

Kino kiddiridde gavumenti okusasula kkampuni ya Energo ebidubdu 90 ku 100 ku ssente zeebadde ebanja ku mulimu ogwakaggwa okukola...

General Katumba Wamala minisita w'ebyenguudo n'entambula mu kulambula omulimu ogukolebwa ku luguudo luno ku Lwokuna yagambye nti    ssente obuwunbi 10 zebakyabanja ku kitundu ekyakakokwako zigenda kubaweevwa omwezi guno.

Oluguudo  luno okuli obuwanvu  bwa  kkiromita 100  ng'ozingiddemu n'amakubo agayita mu kibuga Mityana lwatandika okukolebwa ku mwaka gwa 2021 nga lwalina okuggwa mu 2024 wabula nelwongezebwayo okutuuka mu March wa 2027.

Oluguudo olugenda okkolebwa

Oluguudo olugenda okkolebwa

Wonnma awamu oluguudo lwa kuwemmenta obuwumbi bwa ssente za Uganda 395 nga zonna zonna ziva mu gavumenti ya Uganda.

General Katumba yalagidde kontulakita oluguudo okutandika okululola mi bintu byebasobola omula amangu okutaasa abantu okutaasa abatuuze .n'abantu abakweyambisa enfuufu.

Kontulakita ekyasigazzayo kkiromita nga 38 omulimu gonna okuggwa.Oluguudo luno luyita mu disitulikiti ssatu omuli  Mityna, Mubende ne Kassanda   nga luyisa  ebidduduka   okuva mu Kmapala  okutuuka e  Hoima  okuytuuka ku ndsalo ya DR Congo.

Oluguudo luno lwasooka okukolebwa mu myaka gya 80 nga giggwaako mu nkola y’okuwanyisiganyamu ebyamaguzi  eya mpa -nkuwe (Bbata ne gavumenti ya Yugoslavia ne  Uganda gyewa ebijajaalo nebatuloleramu oluguudo luno.

Oluguudo lwa  Mityana- Mubende lwerumu ku nguudo ezikyasinze okuwangaala nga terunaddibwamu kuddabiriozibwa

Tags: