OMUKUBIRIZA w’olukiiko lw’Abataka abakulu b’ebika, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba asabye bannabyabufuzi okutumbula obuwangwa bw’abantu ba Uganda kubanga bukola kinene mu kusiga obuntubulamu mu bantu.
Namwama Mutumba nga ye mukulu w’ekika ky’Ekkobe, yasabye bannabyabufuzi bakozese akazindaalo okutumbula ebyobuwangwa kubanga ensi nnyingi ezibitumbudde ne zikulaakulana okuli China, Buyindi, Japan n’endala.
Yabadde aggalawo enkola y’okuleeta amakula ga Kabaka mu Lubiri ng’omukolo gwabadde mu Lubiri e Mmengo n’akubiriza abantu okukuuma ennono y’okuleetanga amakula, okulabirira embiri.
Era yakunze abaami b’amagombolola abaleeta amakula okutuuka ku buli muntu okusobola okuwaayo agaweesa ekitiibwa.
Eggombolola okuli Ssaabagabo - Ssekanyonyi okuva e Ssingo nga yakulembeddwaamu omwami Barnabas Ssenabulya, Musa Kikomeko ye yakulembedde ab’e Bukomero - Ssingo n’aba Ssaabagabo Lufuka - Kyaddondo baakulembeddwa Omwami waalyo Matiya Kayijja nga bano baaleese ebintu bingi okuli ente, amatooke, enkoko, ebikajjo n’ebirala.
Omukulu w’ekika ky’Endiga, Lwommwa Ying. Daniel Bbosa yasabye abantu ba Buganda bulijjo okufuba okwolesa empisa yonna gye babeera kubanga babeera batumbula ekifaananyi n’ekitiibwa kya Kabaka.
Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Moses Luutu yasinzidde wano n’alambulula ebyo ebitaleetebwa mu Lubiri ng’amakula era ne yeebaza Omubaka omukazi owa Kiboga, Nakimwero Kaaya olw’okuwagira emirimu gya Kabaka mu kitundu kino ate n’okuwerekeranga abaami bonna nga baleeta amakula ssaako n’oluwalo.