OMULABIRIZI wa West Buganda Bp. Gaster Nsereko 59, atuuziddwa n’akuutirwa okumaliriza n’okwongera ku ebyo Omulabirizi eyawummudde, Henry Katumba Tamale by’akoze.
Omukolo gwabadde mu kibangirizi kya Lutikko y’Omutukuvu Paulo e Kako, Masaka nga gwatandise ku ssaawa 3:00 ez’oku makya n’ennyiriri z’abaweereza abaakulembeddwa Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu.
Omulabirizi Nsereko Mu Mmotoka Pulezidenti Gye Yamutonedde.
Omulabirizi wa Bukedi, Samuel George Bogere Egesa ye yabuulidde mu mukolo ogwetabiddwaako bannabyabufuzi ab’enjawulo.
Bp. Bogere yasabye abantu okusuula emize Katonda gy’atayagala era yasibiridde Bp. Nsereko entanda nti Katonda eyamulonze waali okumuwanirira, alina kumusaba na kumwesiga ebirala bijja kwekola byokka.
Yasabye Abakristaayo ba West Buganda obutamugeraageranya ku Bp. Tamale kuba bantu banjawulo Katonda be yawa ebitone ebitafaanagana.
Bp. Katumba Tamale yasiibudde Abakristaayo mu butongole n’abeebaza olw’emirimu gye bakoze bonna omuli enjiri n’okwekulaakulanya naddala nga balima emmwaanyi mu myaka 8 n’emyezi musanvu gy’amaze mu ntebe y’Obulabirizi.
Ssaabalabirizi Kazimba yeebazizza Bannamasaka okulonda Omulabirizi waabwe awatali kusika muguwa.
Abakungu Ba Gavumenti Y'e Mmengo.
Yasabye Bp. Nsereko okwongereza ku banne omukaaga abaasooka bye bazze bakola ng’ali wamu n’Abakristaayo ssaako okumaliriza emirimu Bp. Katumba gy’alese mu kkubo ng’okumaliriza ennyumba y’Omulabirizi empya.
Pulezidenti Museveni eyayitibwa ng’omugenyi omukulu yakiikiriddwa Minisita w’ebyamasannyalaze, Can. Dr. Ruth Nankabirwa Ssentamu eyamusomedde obubaka obwakunze Abakristaayo okwenyigira mu nkola za Gavumenti ez’okwekulaakulanya omuli ennima n’ennunda evaamu ssente, okutandikawo amakolero, okwenyigira mu buweereza n’ebya tekinologiya nti ly’ekkubo Gavumenti ya NRM gy’etunuzza omumuli.
Can. Nankabirwa yayanjudde emmotoka ey’ekika kya Prado Land Cruiser, Pulezidenti Museveni gye yaweerezza Bp. Nsereko emuyambeko mu kutalaaga endiga ze mu Bulabirizi buno nga butwala disitulikiti 8.
Abakristaayo abaabaddeyo.
Obwakabaka bwanirizza Nsereko
Obwakabaka bwakiikiriddwa omumyuka owookubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule, Ssentebe w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Augustine Mutumba - Namwama, baminisita, abaami b’amasaza n’abalala.
Omukolo era gwetabiddwaako Bp. Severes Jumba, Ssaabawolereza wa Gavumenti Kiryowa Kiwanuka, Baminisita Aisha Ssekindi, Hanifer Kawooya, eyaliko omumyuka wa pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi n’abalala.
Bp. Nsereko alaze by'atandikirako Bp. Nsereko yalaze ppulaani ey’okubuulira n’okubunyisa enjiri, okuwanirira abasumba n’abaweereza b’Ekkanisa, okwenyigira mu nteekateeka z’okusitula ebyenfuna mu Bakristaayo, okunyweza amaka, okutumbula ennima y’ekibalo, okusitula amasomero n’amatendekero, ebyobulamu n’ebirala.