Amawulire

Nnamwandu wa Lwomwa atenderezza omukwano gw'abadde nagwo eri abaana

NNAMWANDU wa Lwomwa, Gladys Bbosa asonyiye abaakubye bba amasasi n'asaba abantu baleme kubasalira musango kyokka n'asabira oyo eyasimattuse awone asobole okwogera abaamutumye.

Nnamwandu noomu ku bamulekwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Peter Ssuuna

NNAMWANDU wa Lwomwa, Gladys Bbosa asonyiye abaakubye bba amasasi n'asaba abantu baleme kubasalira musango kyokka n'asabira oyo eyasimattuse awone asobole okwogera abaamutumye.

Yatenderezezza bba olw'omukwano gw'abadde naye ate n'okwagala abaana baabwe n'okusinga ye omukyala.

Yagambye nti abadde mwegenderezza nnyo ku baana naddala ku butambi bwa ffirimu ze balaba ng'abadde asooka kubulondoola era n'asinziira wano okusaba abazadde ku nkuza y'abaana eteesitazza.

Gladys yagambye nti omwami yamulaga bizinensi engeri gye bazitambuzaamu n'okutuuka okumulaga wa gye yagula empale eyasooka ekitegeeza nti abadde amwesiga ng'omukyala era nga bakolera wamu.

Abamu Ku Bamulekwa Lwa Lwomwa

Abamu Ku Bamulekwa Lwa Lwomwa

Yasabye abaana okutambula n'omukululo gwa kitaabwe olw'omukwano gw'abalaze.

Yatottodde engeri bba gye yakubibwa abazigu n'agamba nti yalaba abantu ababagoberera okutunula nga babali mu maaso ne basikayo emmundu era yalaba bba ng'akutte ku maaso bwe yayita Yesu yaddamu okuwulira ng'ebyasi bivuga.

Annyonnyola nti bba yali tasobola kuva mu mmotoka lwakuba yali yeesibye olukoba n'awanika emikono ng'alaba obubwe bukomye era agamba kyamutiisa n'afuluma kiwalazima okumutunuulira ng'avaamu musaayi kwe kukuba enduulu eyasomboola abantu.

Oluvannyuma abaana b'omugenzi nga bakulembeddwamu Bruce Bbosa Kalyesuubula baatenderezza kitaabwe olw'okwagala Katonda ne basuubiza obutamuvaako.

Beebazizza abababeereddewo mu mbeera gye bayitamu wabula ne basaba abakulembeze abakulu b'ebika okubalungamya basobole okubeera obumu newankubadde kitaabwe kati mugenzi.

Lwomwa yakubiddwa amasasi ku Ssande akawungeezi ng'abaamutta omu naye yattibwa omulala n'akubibwa kati afuna bujjanjabi mu ddwaaliro e Mulago nga bw'alinda okuwona akunyizibwe ku baamutuma.

Tags:
Nnamwandu
Lwomwa
omukwano
abaana