Omugagga Sudhir Ruparelia asiimiddwa olw'okusitula omutindo gwa Real Estate mu Uganda

DR Edwin Musiime ssentebe w'ekibiina  kya Uganda Homeowners Association yakulembeddemu banne ku mukolo gw'okusiima Dr Sudhir Ruparelia olw'omulimu gw'akoze olw'okusitula omutindo gwa Real estate mu Uganda n'okulaga bannayuganda nti kisoboka. 

Sudhir mu katono ate mu kinene bye bimu ku bizimbe bye
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

DR Edwin Musiime ssentebe w'ekibiina  kya Uganda Homeowners Association yakulembeddemu banne ku mukolo gw'okusiima Dr Sudhir Ruparelia olw'omulimu gw'akoze olw'okusitula omutindo gwa Real estate mu Uganda n'okulaga bannayuganda nti kisoboka.

Ekimu ku bizimbe bya Sudhir ebimanyiddwa nga One 10 apartment Tower

Ekimu ku bizimbe bya Sudhir ebimanyiddwa nga One 10 apartment Tower

Dr Musiime ategeezezza nti Sudhir ebbanga lye lyonna awangaalidde mu bulamu bw'akusitula mutindo gwa bannayuganda ng'ayita mu bintu ng'okuzimba ebizimbe eby'omulembe omuli Hotels, okutumbula eby'enjigiriza,eby'obulamu, Banking, eby'obulimi ssaako n'ebyobulambuzi.

Ekizimbe kya Sudgir kyeyabbulamu mutabami we omugenzi Ragiv Ruparelia

Ekizimbe kya Sudgir kyeyabbulamu mutabami we omugenzi Ragiv Ruparelia

Sudhir amanyiddwa ng'omugga asinga mu Uganda olwa Business zaalina omuli Real estate,Speke Resort Munyonyo, Kabira Country Club, Pearl Tower, Kingdom Kampala,  One-10 apartment.

Okusinziira ku katabo akasengeka abagagga mu nsi yonna akamanyiddwa nga Forbes Magazine kalaga nti Sudhir olugendo lwe olw'obugagga lwatandikira London gyeyatereka 25000 eza Dollar era olw'akomawo mu Uganda 1985 n'atandika business y'okutunda Beer oluvannyuma n'ayingira real estate era kati akyusizza Kampala ne Uganda.

Bweyabadde ayogera ku mukolo Minisita w'amayumba n'ettaka Judith Nabakooba, yategeezezza nti Uganda ekyetaaga amayumba agawerera ddala obukadde 7 era n'ategeeza nti Gavumenti egenda kukola kyonna ekisoboka okulaba ng'ekwatagana n'abanatu sekinnoomu okulaba ng'ekizibu ekyo bakinogera eddagala.