DR Edwin Musiime ssentebe w'ekibiina kya Uganda Homeowners Association yakulembeddemu banne ku mukolo gw'okusiima Dr Sudhir Ruparelia olw'omulimu gw'akoze olw'okusitula omutindo gwa Real estate mu Uganda n'okulaga bannayuganda nti kisoboka.
Ekimu ku bizimbe bya Sudhir ebimanyiddwa nga One 10 apartment Tower
Dr Musiime ategeezezza nti Sudhir ebbanga lye lyonna awangaalidde mu bulamu bw'akusitula mutindo gwa bannayuganda ng'ayita mu bintu ng'okuzimba ebizimbe eby'omulembe omuli Hotels, okutumbula eby'enjigiriza,eby'obulamu, Banking, eby'obulimi ssaako n'ebyobulambuzi.
Sudhir amanyiddwa ng'omugga asinga mu Uganda olwa Business zaalina omuli Real estate,Speke Resort Munyonyo, Kabira Country Club, Pearl Tower, Kingdom Kampala, One-10 apartment.
Okusinziira ku katabo akasengeka abagagga mu nsi yonna akamanyiddwa nga Forbes Magazine kalaga nti Sudhir olugendo lwe olw'obugagga lwatandikira London gyeyatereka 25000 eza Dollar era olw'akomawo mu Uganda 1985 n'atandika business y'okutunda Beer oluvannyuma n'ayingira real estate era kati akyusizza Kampala ne Uganda.
Ebimu ku bizimbe bya Sudhir
Bweyabadde ayogera ku mukolo Minisita w'amayumba n'ettaka Judith Nabakooba, yategeezezza nti Uganda ekyetaaga amayumba agawerera ddala obukadde 7 era n'ategeeza nti Gavumenti egenda kukola kyonna ekisoboka okulaba ng'ekwatagana n'abanatu sekinnoomu okulaba ng'ekizibu ekyo bakinogera eddagala.