Nkubakyeyo atabuse ne mukyala we

AVUDDE ku kyeyo mu America atabuse ne mukyala we n’amugoba mu maka agatemya kati battunka mu kkooti ayagala kumuggyako baana ababiri bebalina abawe muggyawe abalabirire.Hassan Kizito 57, Munnayuganda alina obutuuze bwa America era nga mutuuze w’e Kansanga mu zooni ya Kiwafu Estate, y’atutte mukyala we Brenda Nakitende 28, mu kkooti e Makindye, ayagala emuwe obuyinza ku baana ow’emyaka ebiri n’esatu abaggye ku mukazi.

Kizito ne Nakitende nga bakyali mu mukwano.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AVUDDE ku kyeyo mu America atabuse ne mukyala we n’amugoba mu maka agatemya kati battunka mu kkooti ayagala kumuggyako baana ababiri bebalina abawe muggyawe abalabirire.
Hassan Kizito 57, Munnayuganda alina obutuuze bwa America era nga mutuuze w’e Kansanga mu zooni ya Kiwafu Estate, y’atutte mukyala we Brenda Nakitende 28, mu kkooti e Makindye, ayagala emuwe obuyinza ku baana ow’emyaka ebiri n’esatu abaggye ku mukazi.
Nakitende agamba nti, yakwatagana ne Kizito ng’ali mu Dubai gye yali agenze okukuba ekyeyo. Kizito yali agenzeeyo kuwummulamu okuva mu Amerika gye yali abeera, baasiimagana ne basalawo okukola famire:
Kizito yantegeeza nti, ayagala abeereko ne famire, tudde e Uganda tuzaale abaana naye afuuke taata, nti kubanga mukyala we gwe yalina mu America yafa nga tamuzaaliddeeyo mwana. Nnakkiriza, wadde musajja akuze mu myaka, kino kyampa essuubi nti nfunye omuntu omukulu atakyalabankana.
Twakomawo e Uganda mu 2017, ne tugenda mu bakadde bange e Gaba n’akyala ne bamulaba ne tutandika okubeera ffembi, mu mukwano omungi mu makaage e Kansanga. Yantonera n’ekirabo ky’emmotoka.
Twatandika okuzaala abaana, twasooka muwala ow’emyaka esatu n’ekitundu ne tuzzaako omulenzi ow’emyaka 2, kati awo embeera we yatandikira okutabuka ng’abakazi batandise okunkubira essimu banvuma. Ebimu yabiwuliranga naye nga talina ky’akolawo.
Nagezaako okwogera naye enfunda eziwera okumanya ekikyamu kye nnamukola ntereeze tugende mu maaso n’agaana okwogera. Bwe naamulemerako ennyo yantegeeza nti, muganzi we bulijjo ankubira amasimu ng’anvuma, nti nze mmulemesa okuba naye kubanga musindikira ebyokoola ebimumazeeko emirembe, nti era yamugambye nze njagala kumutta (okutta baze) nsigaze ebyobugagga bye.
Ensonga zampitirirako ne tuzitwalako mu bantu abakulu ne batutuuza, omwami yeerema okukyusa, n’ategeeza nga bwennina abasajja abamuweereza obubaka ku ssimu ye nga bamutiisatiisa.
Waliwo omuntu eyampeerezanga obubaka ku ssimu ng’atiisatiisa baze nti yamutwalako mukyalawe kyokka poliisi yanoonyereza ne kizuulibwa nga muganzi wa baze yalina omuntu gw’aguze n’atandika okuweereza obubaka atutabule kubanga nze nali simumanyi.
Nalowooza nti ekyo kikoleddwa anaatereeza kyokka yayongera kutabuka. Yafuna ennyumba e Kyengera ya bisenge bibiri, n’aleeta emmotoka naatikka ebintu nga seetegese, n’antegeeza nti tuveemu abapangisa bagirambule bulungi, nti ssente z’omwaka zebanasooka okusasula ze tujja okugulako ennyumba endala.
Olwatutuusa e Kyengera n’agenda teyaddamu kulabika, yansuulayo n’abaana teyaddamu wadde okutuweereza ssente z’okukozesa, n’addayo e Kansanga n’awasizaayo omukazi omulala. Naddamu okufuna essimu emuwuliza oluvannyuma lw’omwaka ng’eva ku poliisi e Kabalagala, andoopye nti namugaana okulaba ku baana be, ate babeera mu kifo kikyamu, ayagala mbamuwe abeere nabo.
Mu kkooti yasabye emuwe obuyinza obujjuvu ku baana (‘full custody’) nti bali mu mbeera mbi, basula mu kifo ekibi, tebalabirirwa bulungi n’ebirala kyokka nga ye kitaabwe ali obulungi.
Mu kkooti yandoopa ne maama wange Rose Nakacwa.
Omulamuzi Robert Akiip y’abadde awulira omusango era yatuwa lwa November 29, okuwa ensala naye bwe kwatuuse teyabaddewo ne batutegeeza nti bajja kutuwa olunaku olulala.
Hassan Kizito ku ssimu yategeezezza nti, ensonga ze zirina kuggweera mu kkooti gye yazitwala.