Amawulire

Nkubakyeyo atabuse bw'asanze nga bba awasirizza mu nnyumba eyazimbibwa mu ssente ze yaweerezanga

Agamba nti yatuuse awaka mu kiro nga yeesunga kusula mu maka gaabwe agamutuuyanyizza ng’ali ku mawanga, wabula yakanze kukonkona nga bba tavaayo n'ekyaddiridde yaggudde ddirisa n'amulagira okutambula aveewo era omukazi yasuze wabweru mu mpewo.

Nkubakyeyo atabuse bw'asanze nga bba awasirizza mu nnyumba eyazimbibwa mu ssente ze yaweerezanga
By: Saul Wokulira, Journalists @New Vision

Omukazi nkubakyeyo atabuse bw'asanze nga bba awasirizza mu nyumba eyazimbibwa mu ssente ze yaweerezanga.

 

Agamba nti yatuuse awaka mu kiro nga yeesunga kusula mu maka gaabwe agamutuuyanyizza ng’ali ku mawanga, wabula yakanze kukonkona nga bba tavaayo n'ekyaddiridde yaggudde ddirisa n'amulagira okutambula aveewo era omukazi yasuze wabweru mu mpewo.

 

Taata w'abaana gamwesibye ne yeewozaako nti omukazi ye yamuwa olukusa awaseeyo omulala amubeesebeese oluvannyuma lw'okumumatiza nga bwe yafuna ekirwadde ekikambwe nga kyava ku ku kubulwa mukyala amukuuma.

 

Bino omukazi abiyise bya bulimba kubanga empapula z'eddwaliro zaalaga nti bba yalwala endwadde y'abazira ekitegeeza nti yali aliiraliira.

 

Penninah Mudondo agamba nti katono agwewo ekigwo bwe yatuuse awaka mu ttumbi kyokka bba Kizito Fred n'agaana okumuggulira olwo n'asula ku lubalaza mu mpewo era we yakitegeeredde nti mu nnyumba bba yateekamu dda omukazi alina n'ettu lya mugema.

 

Abafumbo bano abalina abaana basatu, batuuze b'e Kisoga mu ggombolola y'e Nazigo mu disitulikiti y'e Kayunga era nga twabasanze mu ofiisi ya Collins Kafeero akola ku nsonga z'amaka, abaana n'eddembe ly'obuntu Mudondo gye yaddukidde olw'ekikolwa kya bba kye yayise eky'ejjoogo.

 

Mudondo alinnye mu kyoto nti okufa n'obutanyagwa bba aggye omugole mu nnyumba ye gye yabonaabonera ku kyeyo okumala emyaka ena.

 

Kizito akkirizza nti ye yasindika Mudondo ku kyeyo agende akole ssente basobole okuzimba ennyumba mu poloti gye baagula ate ssente endala bagule ekibanja balime era nti bakkaanya nti amaleyo emyaka ebiri akomewo kyokka Mudondo yamalayo emyaka ena.

 

Kizito agamba nti yasaba Mudondo olukusa afuneyo omukazi nga yeekwasa nti yali afunye ekirwadde ky'agamba nti kyava ku kubulwa mukyala amubeesabeesa ekintu Mudondo ky'awakanya nga agamba nti n'empapula z'eddwaliro ono ze yamulaga abasawo baawandiika nti Kizito yasaka endwadde y'abazira.

 

Kafeero alagidde Kizito aggye omugole mu nnyumba ya Mudondo amufunire gy'amuteeka.

 

Kizito asabye nti aweebweyo ebbanga anoonye w'ateeka omugole kubanga tayinza kumala gamugoba nga muzito.

 

Kafeero agambye nti ekiteeso kyali kirungi nnyo Kizito okusindika mukazi we e Buwalabu akube ekyeyo basobole okwezimba wabula kikyamu okuteeka omukazi omulala mu ntuuyo za munne.

Tags:
Kyeyo
Kutabuka
Nnyumba
Bba
Kusanga