Nakibinge agguddewo omuzikiti n’akontola Mubaje

JJAJJA w’Obusiraamu Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu agenze e Nakifuma n’akola omukolo ogw’okuggulawo omuzikiti ggaggadde Mufti Sheikh Ramadhan Mubaje gwe yabadde alaalise okulemesa Kibuli okuguggulawo.

Omulangira Nakibinge (owookubiri ku ddyo) mu kuggulawo omuzikiti
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

JJAJJA w’Obusiraamu Omulangira Kassim Nakibinge Kakungulu agenze e Nakifuma n’akola omukolo ogw’okuggulawo omuzikiti ggaggadde Mufti Sheikh Ramadhan Mubaje gwe yabadde alaalise okulemesa Kibuli okuguggulawo.
Omulangira Nakibinge asinzidde ku mukolo ogw’okuggulawo n’akontola Mubaje nti amwewuunya okulonda omuzikiti nga guwedde n’atandika okugwesibako n’agattako nti n’ettaka kwe gwazimbiddwa talirinaako kakwate.
Yagambye nti omuzikiti gubadde mu mbeera mbi nga Mubaje tavaayo kyokka alabye guwedde n’avaayo okwagala okufuna ebyendola Omuzikiti guno ogwatuumiddwa Masgid Yusufu gusangibwa Nakifuma mu Naggalama Town Concil e Mukono era Nakibinge yagugguddewo ku Ssande nga gwazimbiddwa Hajj Hussein Kakande. Omukolo gw’okuggulawo gwakoleddwa mu mirembe awatali kutaataaganyizibwa
Mubaje yabadde alabudde wiiki ewedde ng’asinziira ku kyalo Mwanyanjiri mu Ggombolola y’e Nakisunga e Mukono bwe yali aggulawo omuzikiti ogwazimbibwa Dr. Muhamad Nsubuga n’ategeeza nti ettaka Omuzikiti gw’e Nakifuma kwe gutudde lya UMSC era mbu agenda kukozesa amateeka ettaka kwe gutudde lidde mu mikono gya UMSC