Amawulire

Mwewale enjawukana tuyiire Pulezidenti Museveni obululu - Sipiika Among

AMYUKA Ssentebe wa NRM ow’okubiri omukyala Anita Among asabye abantu b’e Busoga okwewala enjawukana mu kadde kano ezireeteddwa abanene mu NRM essira baliteeke ku kulaba nga bayiira Pulezidenti Museveni akalulu.

Mwewale enjawukana tuyiire Pulezidenti Museveni obululu - Sipiika Among
By: Edith Namayanja, Journalists @New Vision

AMYUKA Ssentebe wa NRM ow’okubiri omukyala Anita Among asabye abantu b’e Busoga okwewala enjawukana mu kadde kano ezireeteddwa abanene mu NRM essira baliteeke ku kulaba nga bayiira Pulezidenti Museveni akalulu.

Among leero akuyegeze abantu b’e Mayuge okulonda Museveni mu kalulu ka 2026 ng’amakanda agasimbye ku kyalo Bukuzibu mu  ggombolola ya Malongo mu ssaza lya Bunya South.

Sipiika Among n'eyaliko omubaka wa Jinja West Moses Balyeku

Sipiika Among n'eyaliko omubaka wa Jinja West Moses Balyeku

Ategeezezza abeeno nti akimanyi akalulu ka CEC kaaleeta enjawukana ya maanyi mu Busoga nga abamu baali tiimu Mulamu ate abalala ttiimu maama n’agamba nti ku lw’obulungi bw’ekibiina ne Busoga okuba obumu basaanye okubeera ekitole mu kadde kano bawagire Museveni.

Asuubiza abeeno nga oluguudo okuva e Iganga okutuuka e Mayuge bwe lugenda okukubwa kkolaasi, ng’ebibiira byakwongerwa obukuumi, bayambibwe okwongera omutindo ku bye balima nga n’etteeka erikuuma abavubi ku nnyanja kati weeriri.

Kusaasira ng'asanyusa ab'e Mayuge.

Kusaasira ng'asanyusa ab'e Mayuge.

Among era ayongedde okumatiza bano nti Museveni yekka y’asobola kubanga ye yaliko ku ludda oluvuganya okumala ebbanga ddene wabula eyo abaabeerayo baasuubizanga mpewo yokka.

Tags:
Busoga
NRM
Gulu
Sipiika
Bululu
Museveni