Amawulire

Poliisi ekutte ababadde batambuza ddoola ez'ebikwangala

EKIBINJA ky'abantu abagambibwa nti baludde nga bakwata bannaabwe obujega ne babafera ku ddoola ez'ebikwangala n'okubabba, bakwatiddwa poliisi.

Poliisi ekutte ababadde batambuza ddoola ez'ebikwangala
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

EKIBINJA ky'abantu abagambibwa nti baludde nga bakwata bannaabwe obujega ne babafera ku ddoola ez'ebikwangala n'okubabba, bakwatiddwa poliisi.

Ekikwekweto kino, ekizingiddemu abasuubuzi, kiyindidde Namungalwe e Iganga era okukakkana nga Bana, bayoleddwa.

Kino kiddiridde ekibinja ky'abantu, okufera abasuubuzi okuva mu bitundu eby'enjawulo ne babawa ddoola ez'ebikwangala nga kuno kwe bagasse n'okubazingiza ne babanyagako ssente enkalu.

Abakwatiddwa, kuliko Juma Isabirye amanyiddwa nga Magezi 30, omusuubuzi ng'abeera Buwenge e Jinja, Shafik Bamwitire 22, nga naye musuubuzi  ow'e Buwenge.

Abalala, ye Micheal Madagawa 24 mukozi wa chapati e Kawete ng'abeera Namungalwe ne Isaac Augustine Nyende 30 ow'e Nsinze Namungalwe.

Kitegeezeddwa nti okuva mu mwezi gwa October okutuusa leero, poliisi eriko emisango egiwerako gy'ebadde erondoola ku bunyazi obw'engeri eno.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, ategeezezza nti nga Oct 27 , Christoper Muyingo 45 ow'e Bunga Church zzooni mu Kampala, baamunyagako obukadde 6.

Ayongeddeko nti nga Oct 28, Bashir Semakula 46 ow'e Kiboba mu ggombolola y'e Nama e Mukono , baamunyagako kumpi obukadde 7,  nga Oct 29, Ben Okurut 30 ow'e Igaitani  e Namayembe, baamunyagako obukadde 18.

Kasadha agasseeko nti, akulira ekibinja kino  Juma Isabirye, agambye nti , buli lwe babadde babba, nga bawaako abatuuze ku kyalo, okusobola okubazibira n'okubayambako mu bintu eby'enjawulo.

Tags:
Amawulire
Poliisi
Kukwata