KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye amaka mu Buganda okukitwala ng’ekkatala okunywa kaawa kisobozese obulimi bw’emmwaanyi okuyitimuka.
Mayiga agamba nti kino kyakuyamba okukuza abaana okuva obuto nga bamanyi obukulu n’omugaso gw’okunywa kaawa nga nabo bwe banaakula ne bakola amaka agaabwe, bajja kuba tebakaluubirirwa kumunywa.
Yabadde Wakiso ng’aggulawo ekirabo kya kaawa ekisoose mu nteekateeka y’Emmwaanyi Terimba ekiyitibwa Loyz Coffee Shop ekisangibwa ku Nakibuule Plaza. Yagambye nti abantu nga bwe bakola ku matooke nga bagalima ne bageeriira, bwe basaanye n’okukola ku mmwaanyi.
Omutandisi w’ekifo kino, Aloysius Ssemmanda Kyeyune ng’era ye mumyuka asooka ow’omwami w’essaza ly’e Busiro, yagambye nti ekifo kino kitandikiddwaawo okukola ng’ekyokulabirako ky’okugatta omutindo ku mmwaanyi n’okusobozesa abantu okwewummuzaamu obulungi.
Omwami w’essaza lino ery’e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza yeebazizza Katikkiro olw’okwagala Bannabusiro era nga beesunga amagezi aganaabaweebwa mu bulimi bw’emmwaanyi.
Minisita omubeezi ow’ebyobulimi, Hajji Amisi Kakomo yategeezezza nga Katikkiro bw’agenda okulambula abalimi mu maggombolola okuli; Mumyuka Wakiso, Kakiri, Namayumba ne Masuuliita era nga waakutongoza sizoni esooka ey’okusimba emmwaanyi mu Buganda.
Olwavudde eno, Katikkiro yagenze ku kyalo Kibuye ewa Richard Wasswa ng’obulimi buno abukolera mu bwegassi ne banne mu ggombolola y’e Kakiri.
E Namayumba ewa Nelson Kaseenene Kalyango, ng’ono era ye ssentebe wa Namayumba Town Council, Mayiga yakubirizza abazadde n’abasomesa obutakuza baana n’endowooza nti obulimi kibeera kibonerezo era nti obulimi tebufuna.
Mu kwogera kwe, Kaseenene Kalyango yasabye Katikkiro okukubiriza abantu naddala abalina abaana abaliko obulemu okubalabirira obulungi nga ye bwe yakuzibwa bakadde be nga kati kyakulabirako kuba alina ensuku, emmwaanyi, munnabyabufuzi ate alina n’essomero.
Katikkiro yatambudde ne minisita Noah Kiyimba, Henry Ssekabembe ne Mariam Mayanja. Yalambuziddwa emmwaanyi za yiika 15 ku kigo ky’e Kiziba mu ggombolola y’e Masuuliita era bwanamukulu Fr. Edward Ssebuliba n’amulaga n’ekikolo ky’emmwaanyi kye yasimba nga April 30, 2019. Mu lugendo luno yabadde n’abakulembeze mu Wakiso okwabadde omubaka wa Busiro North, Paul Nsubuga ne ssentebe wa disitulikiti Matia Lwanga Bwanika