OMUBAKA omukazi owa Bukoma Nsimbi North, Christine Nandagire Ndiwalana yeekubidde enduulu mu palamenti ebataase ku bamaalaya abasusse mu kitundu nga kati batandise n’okutta abalimi abalinamu ku ka ssente n’asaba bwe kiba kisoboka gavumenti ebasengule ebatwale mu kitundu amateeka gye gayinza okubakolerako.
Okusaba kuno Nandagire akukoledde mu palamenti mu kaseera k’okwanjizaamu ensonga eziruma bannayuganda mw’ategeerezza nti ettemu lyeyongedde mu kitundu lwa bamalaaya abayitiridde mu ‘town council’ y’e Kigangazi.

Omubaka Christine Nandagire Ndiwalana
Yagambye nti basinga kwettanira balimi ba mmwanyi ng’olutegeera nti waliwo eyatunze batandika okumusendasenda n’ekigendererwa eky’okumutta bakulite n’obusente bwe era nga abasajja 3 be baakattibwa mu ngeri eyo.
Ng’oggyeeko ekizibu kya bamalaya, obuzibu yabutadde ku balimi bano abatereka ensimbi mu mayumba mu kifo kya bbanka olwo nebawa ba malaaya omukisa okubanyaga oluusi n’okubatta.
Nga kireeseewo n’akawuka akaleeta mukenenya okweyongera mu bantu newankubadde abasinga obufumbo bwa bwe buli mu mateeka.
Omubaka ategeezezza nti babakooye era bwe kiba kisoboka batwalibweko mu kitundu ekirala omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa n’awabula nti obwamalaaya tebukolebwa mu mateeka n’olwensonga eyo okugamba nti batwalibwe mu kitundu ekirala kikyamu.
Katikkiro wa Uganda Robina Nabbanja abagumizza nga ekizibu kino bwe kigenda okugonjoolwa okuyita mu LC z’ebitundu nga bayambibwako abeebyokwerinda abajja okubasindikirwa.