Muto wa Dr. Kulthum nnamwandu wa muzaata aseeredde mu kinaabiro n'afiirawo!

OBUSIRAAMU buli mu kiyongobero olw’okufa kwa Sheikh Ibrahim Sebunya eyagudde mu kinaabiro n’afa.

Muto wa Dr. Kulthum nnamwandu wa muzaata aseeredde mu kinaabiro n'afiirawo!
By Meddie Musisi
Journalists @New Vision
#Busiraamu #Muzaata #Kinaabiro #Nnamwandu

OBUSIRAAMU buli mu kiyongobero olw’okufa kwa Sheikh Ibrahim Sebunya eyagudde mu kinaabiro n’afa.

Sheikh Sebunya abadde omusomesa w’eddiini y’Obusiraamu ku ssomero lya Biral Islam Primary School e Bwaise abadde muto wa Dr. Kluthum Nabunya, eyali nnamwandu wa Sheikh Nuhu Batte Muzaata.

 

Waafiiridde, Sheikh Sebunya abadde yeegulidde erinnya mu kusomesa ku bintu eby’enjawulo ku Busiraamu ku mutimbagano.

Mu kuziika ku kyalo Kyato e Nakaseke, Dr. Kruthum yagambye nti mwannyinaabwe ono
y’abadde omulenzi yekka mu baana abawala omunaana era y’abadde omusika waabwe gwe baalonda nga kitaabwe afudde.

Yategeezezza ng’amaziga gamuyitamu nti mwannyinaabwe ono teyalwadde wabula yagudde mu kinaabiro n’afa kikutuko. Sheikh Sebunya yatendekebwa mukoddomiwe omugenzi Sheikh Nuhu Muzaata Battemu nsonga nnyingi ez’eddiini y’Obusiraamu era yatambulanga nnyo naye ku mikolo egy’enjawulo.

W’afiiridde abadde atemera mu myaka nga 35. Bamaseeka ab’enjawulo bamwogeddeko ng’omuvubuka abadde ayagala ennyo eddiini ye ate ng’afaayo nnyo okusomesa abavubuka.