Museveni asiimye Ababiikira ba Little Sisters e Nkokonjeru nga bakuza emyaka 100 egy’obuweereza

Omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni  asiimye obuweereza bw’ababiikira aba Little Sisters of St. Francis of Assisi bwe baabadde bajaguza okuweza emyaka 100 bukyanga ekibiina kyabwe kitandikibwawo.

Ssaabasumba Paul Ssemogerere, Omumyuka wa Pulezidenti Alupo, omubaka wa Paapa Bianco, Bp. Kakooza ne Sr. Nakitende nga basala keeke.
By Saul Wokulira
Journalists @New Vision

Omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni  asiimye obuweereza bw’ababiikira aba Little Sisters of St. Francis of Assisi bwe baabadde bajaguza okuweza emyaka 100 bukyanga ekibiina kyabwe kitandikibwawo.

Museveni yagambye nti Ababiikira bano bakoze nnyo okutumbula eby’obulamu by’eggwanga nga bayita mu kuzimba amalwaliro n’eby’enjigiriza okuyita mu kuzimba amasomero.

Omumyuka wa  Pulezidenti Alupo ng’afuna ekirabo kya Museveni . Okuva ku kkono; Alupo, Bp. Kakooza, Omubaka wa Paapa Bianco ne Sr. Nakitende.

Omumyuka wa Pulezidenti Alupo ng’afuna ekirabo kya Museveni . Okuva ku kkono; Alupo, Bp. Kakooza, Omubaka wa Paapa Bianco ne Sr. Nakitende.

Obubaka bwa Museveni bwetikkiddwa omumyuka we, Rtd. Maj. Jessica Alupo eyamukiikiridde ku mukolo ogwabadde ku kitebe ky’aba Little Sisters of St. Francis ekisangibwa e Nkokonjeru mu disitulikiti y’e Buikwe.

Emikolo gyatandise na kitambiro kya mmisa ekyakulembeddwa omubaka wa Paapa mu Uganda, Ssaabasumba Luigi Bianco ng’ayambibwako Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemwogerere, omusumba w’essaza ly’e Lugazi,Bp. Christopher Kakooza, omusumba w’essaza ly’e Soroti, Bp. Dr. Joseph Ediru n’omusumba w’e Lugazi eyawummula, Mathias Ssekamanya.

Ababiikira aba Little Sisters of St. Francis nga bajaganya olw’okuweza emyaka 100 bukyanga batandikibwawo.

Ababiikira aba Little Sisters of St. Francis nga bajaganya olw’okuweza emyaka 100 bukyanga batandikibwawo.

Pulezidenti Museveni yasabye Bannaddiini mu ngiri yaabwe bulijjo okukubirizanga abakkiriza era abagoberezi baabwe okukola ennyo okusobola okweggya mu bwavu baleme kukoma ku kusaba mu masinzizo kyokka ng'eky’okulya kibeekubya mpi.

“Mutwale eky’okulabirako ekya Yezu, naye yali mubazzi, kati ggwe bw’omugoberera ate nga toyagala kukola olwo oba ovudde ku mulamwa,” bwe yategeezezza.

Yagambye nti ng’eggwanga, lifubye okuteekawo enteekateeka eziggya abantu mu bwavu omuli n’enteekateeka mwe bayita okugaba ensimbi ez’okwekulaakulanya gamba nga PDM ssaako okukola enguudo okusobola okusobozesa abakozi okutambuza eby’amaguzi byabwe.

Omumyuka wa Pulezidenti Alupo ng’atuusa obubaka bwa Pulezidenti Museveni.

Omumyuka wa Pulezidenti Alupo ng’atuusa obubaka bwa Pulezidenti Museveni.

Okusinziira ku nnankulu Sr. Ritah Christine Nakitende atwala ekibiina ky’ababiikira ab’e Nkokonjeru yagambye nti kyatandikibwawo Maama Kevina nga May 1, 1923 nga mu bimu ku bye yakola mwalimu okutandika eddwaliro lya St. Francis Nsambya, St. Francis Naggalama, St. Francis Nkokonjeru, Buluuba, Nyenga n’amalala.

Sr. Nakitende era yagambye nti Maama Kevina era yatandika n’amasomero okuli; St. Agnes Girls P/S Naggalama, Mt. St. Mary’s College Namagunga, St. Theresa Namagunga Girls P/S, Stella Maris Girls Boarding P/S Nsuube, Uganda Martyrs Namilyango Junior Boys P/S, St. Francis Madela erya bamuzibe erisangibwa e Soroti, Sancta Maria PTC e Nkokonjeru, n’amalala.

Ng’ayigiriza, Omubaka wa Paapa Bianco naye yatenderezza Ababiikira olw’obuweereza obutudde mu maaso emirimu gya Maama Kevina emyaka 100 nga tebaddirira.

Ababiikira aba Little Sisters of St. Francis nga bajaguza olw’emyaka 100 ekibiina kyabwe gye kyakamala bukyanga kitandikibwawo.

Ababiikira aba Little Sisters of St. Francis nga bajaguza olw’emyaka 100 ekibiina kyabwe gye kyakamala bukyanga kitandikibwawo.

Omubaka wa palamenti owa Buikwe South, Dr. Micheal Lulume Bayiga yaloopedde Pulezidenti Museveni abakambwe nga n’abasinga beesoma nga bwe bali mu gavumenti era nga bakozesa n’okukuumibwa ab’emmundu be yagambye nti basusse okuliisa Ababiikira akakanja nga bwe babanyagako ettaka ate nga ne bwe beekubira enduulu mu kkooti bakanya kutambula nga tebafuna kuyambibwa.

Mu kwanukula, Alupo yagambye nti akageri gye kiri nti ensonga zino yabadde yaakazitegeera, yabadde waakuzitegeeza omukulembeze w’eggwanga amangu ddala ng’akomyewo okuva ku bugenyi bw’aliko mu nsi y’e Burundi era n’akakasa nti baakufuna obuyambi.

Museveni yadduukiridde Ababiikira n’ensimbi obukadde 60 ez’obuliwo nga zino Alupo yazikwasizza Sr. Nakitende n’omumyukawe Sr. Seraphine Amuleni.

Ekifaananyi kya Maama Kevina eyatandika ekibiina ky’Ababiikira ekya Little Sisters of St. Francis.

Ekifaananyi kya Maama Kevina eyatandika ekibiina ky’Ababiikira ekya Little Sisters of St. Francis.

Abantu ab’enjawulo 50 baaweereddwa amabaluwa agabasiima n’emidaali olw’okuwanirira ennyo emirimu gy’Ababiikira mu myaka 100 gye bamaze omuli; Pulezidenti Museveni, omumyukawe Alupo, Omubaka wa Paapa Binaco, Ssaabasumba Ssemwogerere, Bp. Kakooza n’abalala bangi.

Alupo era yatongozezza omulimu gw’okuzimba ekizimbe gaggadde ekigenda okubeerako ebisenge eby’enjawulo 100 nga bino bigenda kubeera nnyumba z’Ababiikira okuli n’abo abakaddiwa abalabirirwa obulabirirwa.

Sr. Nakitende yagambye nti ekizimbe kino kigenda kuwemmenta obuwumbi mwenda nga baakakozesaako obuwumbi bubiri.