Munnayuganda Ayagala ekya Palamenti ya America ayogedde ku lugendo lwe

MUNNAYUGANDA ayagala obwa MP mu America alaze olugendo lwe okuva e Uganda okutuuka e Maryland mu America.

Quincy Wakati ayagala ekya Palamenti y'America
By Joseph Makumbi
Journalists @New Vision

MUNNAYUGANDA ayagala obwa MP mu America alaze olugendo lwe okuva e Uganda okutuuka e Maryland mu America.

Fiona Quincy Bareebe 34, ayagala kukiikirira District 5, mu ssaza ly’e Maryland mu Congress. Olugendo lwe okuva e Uganda okutuuka mu America agamba terwali lwangu kyokka mumalirivu nti bw’ayita mu kamyufu k’ekibiina kya DP n’akwata tiketi, ajja kwesogga Congress oba Palamenti ya America.

Mu mboozi ey’akafubo ne Bukedde Bareebe yagambye nti bamuzaala Kachigani mu Mbarara kyokka yakulira Ntebe. Okuva mu Uganda okugenda mu America, yagendera ku sikaala gye yasaba mu kugezesa emikisa gye.

Quincy ne banne

Quincy ne banne

Agamba kitaawe ye mugenzi Amon Kabareebe Muzoora eyaliko omubaka wa palamenti akiikirira Rwampara (Muzoora yafa December 15, 2018). Aba ffamire ye baategeeza nti yafa bulwadde bwa mutima. Ono era yaliko amyuka akulira abakozi ku Municipaali y’e Ntebe.

Bareebe annyonnyola nti nnyina ye Kahunde Abwooli, ono musomesa mutendeke. Ye mwana ow’okuna mu ffamire y’abaana 9.

“Neegomba nnyo kitenge, yali musajja mukozi, eneeyisa ye n’embeera ze zikoze kinene nnyo mu kuzimba obulamu bwange kubanga namulaba ng’atoba okuyita mu bulamu obwali obuzibu.” Bareebe bwe yagambye.

Bareebe yasomera ku Lakeside Academy e Ntebe, Lake Victoria e Ntebe, siniya yagisomera ku Lake Victoria Academy e Ntebe n’oluvannyuma n’agenda ku Ntinda View College.

“Eby’obufuzi sibitandikidde mu America, nabitandikira mu ssomero kubanga ku Ntinda View, neesimbawo ku kifo kya Head Girl naye nalina eddalu lingi abasomesa ne batanzikiriza era olw’ettuttumu lyange, abaana bannonda ku kya ‘Entertainment prefect’” Bareebe bwe yagambye.

Bwe yava e Ntinda agamba yagenda e Nkumba ku yunivasite era waali wabula omwezi gumu atikkirwe n’agenda mu Amerika.

“Nali nina ebirooto okulaba ku nsi, okufuna emikisa egitali gimu, nali njagala ekintu ekinene okusinga nze naye nga simanyi kiyinza kubeera ki, nagezesa emikisa gyange ne nsaba e Bungereza ne America ne nfuna mu America.”  Bareebe bwe yannyonnyodde.

“Mu mutima gwange nalinamu ekintu ekingamba nti nalina okugenda ku ssomero oba ntya oba ntya era nafuna ekifo mu ttendekero ku kitundu lye bayita Quincy College.” Bareebe bwe yayongeddeko. 

Agamba yasanga okusoomozebwa olw’enono za Uganda ezawukana n’eza America naye yalina okukakasa nti ayiga enono z’Abamerika omwali n’okuzzibwa wansi mu kibiina asobole okuyiga okuwandiika n’amannya g’ebintu.

Bareebe yafuna ddiguli mu kubala ebitabo era yasooka kukolera kkampuni ya KPMG kyokka oluvannyuma Minisitule yebyokwerinda eya America n’emuwa omulimu wadde ng’agamba nti tebyali byangu, yakolerako n’eddwaliro lya Bon Secours e Maryland Barber ng’omubazi w’ebitabo. Ku ssaawa eno, asoma ddiguli yakubiri era y’omu ku bagenda okutikkirwa mu May w’omwaka guno.

Quincy ne famire ye

Quincy ne famire ye

Mukazi mufumbo, bba ye Patrick Ssimbwa, balina abaana basatu, abawala babiri n’omulenzi. Agamba bba mpagi luwaga mu by’obufuzi bye kubanga amuwabula w’aba akoze ensobi ate n’amugumya w’aba aweddemu amaanyi.

ALI KU LUKIIKO OLUFUZI OLWA DP;

Mu kwetegekera olugendo lwe mu palamenti ya America, Bareebe agamba yasooka kufuna kifo ku lukiiko olufuzi olw’ekibiina kya Democratic Party ekya America, yavuganya n’eyali mu kifo kino okumala ebbanga n’amuwangula.

Ku by’obufuzi agattako okukola emirimu emirala esatu okuli ekifo ekirabirira abakadde n’abaliko obulemu kye yatandika ng’ekifo ekiyamba wabula kati alina abakozi 100 n’ebifo 11 mwe bakolera emirimu.

Tiketi ya DP agivuganyaako n’abantu abalala bana okuli abakazi babiri n’omusajja omu kyokka alina essuubi nti bonna abakira olw’obukugu bw’alina mu biruubirirwa bya America n’okutegeera omuntu wa bulijjo.

“Bweseesimbawo essuubi lyaffe lijja kuba lifudde, twetaaga omuntu amanyi kye kitegeeza okutoba wakati w’emirimu esatu n’oteeka emmere ku mmeeza, twetaaga omuntu ategeera kye bayita okubeera maama asobola okulwanirira omwana we, twetaaga omuntu alabye ku mbeera yonna.” Bareebe bwe yagambye