Munnamateeka n'omukozi wa bbanka basimbiddwa mu kkooti lwa kkumpanya ttaka lya mufu

MUNNAMATEEKA Ronald Ceaser Munyanyi 52 n'omukozi wa bank David Arthur Bagambe 47 basimbiddwa mu kkooti lwa kwekobaana kubba ttaka. Bagambe nga mutuuze w'eNtinda Kimera mu divizoni ye Nakawa mu disitulikiti ye Kampala neMunnamateeka Manyanyi nga akolera ku kizimbe kya Kizito Tower bebasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Ronald Kayizzi abasomedde emisango gy'ebegaanye

Munnamateeka n'omukozi wa bbanka basimbiddwa mu kkooti lwa kkumpanya ttaka lya mufu
By Harriet Nakalema and Harriet Nakalema
Journalists @New Vision
MUNNAMATEEKA Ronald Ceaser Munyanyi 52 n'omukozi wa bank David Arthur Bagambe 47 basimbiddwa mu kkooti lwa kwekobaana kubba ttaka.
 
Bagambe nga mutuuze w'eNtinda Kimera mu divizoni ye Nakawa mu disitulikiti ye Kampala ne
Munnamateeka Manyanyi nga akolera ku kizimbe kya Kizito Tower bebasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Ronald Kayizzi abasomedde emisango gy'ebegaanye
 
Bano bagguddwako emisango ebiri okuli ogwokwekobaana okubba ettaka eriwezaako yiika 2 nga lyali lya mugenzi Charles William Makumbi erisangibwa e Busiro bulooka 459 e Nalumunye Katale mu Wakiso district.
 
Kigambibwa nti ababiri mu mwezi gwa August 30,2024 ku luguudo lwa Luwumu street mu Kampala baagezaako okwezza ettaka ly'omugenzi Charles William Makumbi Ddumba erisangibwa e Nalumunye Katale mu Wakiso district n'okugezaako okwekobaana okuzza omusango nga tebafunye lukusa okuva mu baddukanya ttaka eryo.
 
Emisango ggyonna baagyegaanye n'ebasaba kkooti okweyimirirwa nga bayita mu bannamateeka baabwe wabula omuwaabi wa gavumenti Ivan Kyazze asabye kkooti obutakkiriza kusaba kwabano kuba okunonyereza ku musango kukyagenda mu maaso era nga basobola okutaataganya okunonyereza. 
 
Omulamuzi akirizza okusaba kwabwe era n'abayimbula ku kakalu ka kkooti ka bukadde 30 n'ababeyimiridde nabo obukadde 30 ezitali zaabuliwo n'ebalagirwa okuleeta pasipooti zaabwe eri kkooti nga kwotadde n'obutafuluma bweru wa ggwanga nga tebafunye lukusa okuva mu kkooti.
Omusango gwongezeddwayo okutuusa nga okutuusa nga January 8,2025 okumanya okunonyereza wekunaaba kutuuse