Mmengo etegeezezza nti tennafuna ssente za mmotoka ya Kabaka kuva mu gavumenti era nti tezeetaaga

MMENGO etegeezezza nti tennafuna ssente za mmotoka ya Kabaka kuva mu gavumenti era nti tezeetaaga kubanga entambula ya Ssaabasajja bwetyo si bwekolwako.

Mmengo etegeezezza nti tennafuna ssente za mmotoka ya Kabaka kuva mu gavumenti era nti tezeetaaga
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision
#Amawulire #Mmotoka #Kabaka

MMENGO etegeezezza nti tennafuna ssente za mmotoka ya Kabaka kuva mu gavumenti era nti tezeetaaga kubanga entambula ya Ssaabasajja bwetyo si bwekolwako.

Bino biddiridde gavumenti okuwa abafuzi ab’ensikirano 15 emmotoka empya ttuku kyokka nga tekuli ya Kabaka, ekintu Minisita w’ekikula ky’abantu Betty Amongi Akena kye yannyonnyodde nti kyakkaanyizibwako bwe yasisinkana Katikkiro Peter Mayiga.

Yagamba nti bakkaanya nti Obwakabaka bwa Buganda mu kifo ky’okuweebwa mmotoka baweebwemu ssente enkalu era zaabaweebwa.

Kabaka Mutebi

Kabaka Mutebi

Kyokka Minisita w’amawulire, era Omwogezi w’Obwakabaka, Israel Kazibwe Kitooke yasinzidde ku Bulange n’ategeeza nti Minisita alabika yawubiddwa kubanga Mmengo tefunanga ku ssente za mmotoka era Obwakabaka bwa Buganda tebuzeetaaga.

“Obwakabaka tebuweebwanga mmotoka yonna wadde ssente yonna era tebumanyisibwanga ku nteekateeka yonna ekwata ku kugaba emmotoka,” Kazibwe bwe yayogedde.

Minisita Kazibwe yayongedde n’alambulula mu nsisinkano wakati wa Mayiga ne Minisita Amongi nti baayogera ku ky’omusaala n’ensako eweebwa abakulembeze ab’ensikirano okuva mu gavumenti eya wakati.

“Mu nsisinkano ya Katikkiro ne Minisita Amongi, yamutegeeza nti mu buwangwa n’Ennono y’Obwakaabaka bwa Buganda, Kabaka tafuna musaala. 

Nkiddamu Kabaka tafuna musaala. Naye gavumenti esobola okuvujjirira ensonga zonna ez’enkulaakulana okugeza okuddaabiriza Amasiro g’e Kasubi, emirimu gya minisitule y’ekikula ky’abantu ey’Obwakabaka n’enda-la,” Kazibwe bwe yagasseeeko.

Kazibwe yasinzidde wano n’atuusa okwebaza kw’Obwakabaka olw’obuwagizi Gavumenti bw’ewaddeyo mu kuddaabiriza Amasiro g’e Kasubi, okuwagira ttabamiraka w’abakyala mu Buganda n’emirimu emirala.