KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga atenderezza Bannabuddu olw’okunyiikirira okukola emirimu omuva ssente ekizimbye obugagga mu kitundu kino.
Mayiga agamba nti ensangi zino, obusuubuzi mu bitundu by’e Masaka bwa maanyi n’abasaba baleme kuddirira. Yalaze essanyu olw’engeri ekibuga Masaka gye kigenze kikyuka wadde nga wakyaliwo bingi eby’okutereeza.
Mayiga Ng'abuuza Ku Bannaddiini.
“Nneebaza Bannabuddu okunyiikirira okwekolera. Obusuubuzi obuli eno bwa maanyi. Bwe twazze okuggulawo emipiira gy’Amasaza omwezi oguwedde, Pookino n’antwala ku wooteeri Next. Olulala bwe nzija antwala ku Maria Flo, Brovad n’endala.
Ndowooza Next ye wooteeri esinga obupya mu Masaka, mwebale okukola,” Mayiga bwe yagambye.
Yabyogedde aggulawo ekizimbe ekyatuumiddwa ‘Meeru’ era kwe yatongolezza ebijaguzo by’amatikkira ga Kabaka aga 32. Mayiga era yatenderezza Bannabuddu olw’okulima emmwaanyi n’amatooke n’abasaba obutaterebuka olwa bbeeyi y’emmwaanyi esse mu kiseera kino n’agamba nti tewali kintu kitakka bbeeyi.
Yagasseeko nti ebyenfuna tebitambula na pokopoko n’akubiriza abantu okukola obusuubuzi nga temuli byabufuzi era baleme kubissa ne bulimi wabula essira balisse mu kukola ssente balyoke boogere.
Minisita w’obulimi, obwegassi n’obusuubuzi, Hajj Amisi Kakomo yeebazizza Bannabuddu olw’okunyiikirira obwegassi ne yeebaza ekitongole kya Gavumenti ya wakati ekirambika abeegassi nga kikulirwa Richard Waiswa.
Pookino Jude Muleke yategeezezza ng’abantu b’e Buddu bwe bali abakozi nga beetaaga kulambikibwa Bwakabaka ne bannabyabufuzi.
Omukolo gwetabiddwaako ssentebe w’olukiiko olutegeka ebijaguzo by’amatikkira ga Kabaka, Hajji Ahmed Lwasa, baminisita Hajjat Mariam Mayanja, Noah Kiyimba, Nnaalinya Sarah Kagere ne bba Bbaale Mugera.
Bannaddiini okwabadde omusumba w’e Masaka, Serverous Jjumba, omulabirizi wa West Buganda, Gaster Nsereko, bannabyabufuzi abakiikirira Masaka mu Palamenti n’abalala.