Abasuubuzi balaajanidde abeebyokwerinda ku bavubuka abababbira emmaali

Bino byabadde mu lukiiko lw’abasuubuzi abeegattira mu kibiina kya Uganda National Traders Alliance-UNATA ku kibangirizi kya wooteeri ya Mambo ku kizimbe kya Paaka Enkadde Mall ku Lwokutaano.

Abasuubuzi balaajanidde abeebyokwerinda ku bavubuka abababbira emmaali
By Kigongo Moses
Journalists @New Vision
#Amawulire #Mmaali #Byakwerinda #Kulaajana

Abasuubuzi balaajanidde abeebyokwerinda okubataasa ku bavubuka ababanyagako emmaali yaabwe mu kibuga wakati nga bawerekera bannabyabufuzi.

Bino byabadde mu lukiiko lw’abasuubuzi abeegattira mu kibiina kya Uganda National Traders Alliance-UNATA ku kibangirizi kya wooteeri ya Mambo ku kizimbe kya Paaka Enkadde Mall ku Lwokutaano.

Dpc Tukundane Nga'yogerako Eri Abasuubuzi

Dpc Tukundane Nga'yogerako Eri Abasuubuzi

Lwetabiddwaamu abeebyokwerinda, abakungu b’omu maka g’Obwapulezidenti, aba URA n’abakulembeze ba UNATA. Abasuubuzi baasabye poliisi ekwate ‘bakifeesi’ abababbako emmaali nga beefudde abawerekera bannabyabufuzi mu biseera by’okulonda bino.

“Tukooye abavubuka abakola ‘eggaali’ mu kibuga wakati ne batubbako emmaali emisana ttuku. Tusaba mubakwate batwalibwe mu mbuga z’amateeka,” ssentebe wa UNATA, Godfrey Katongole bwe yategeezezza ng’alaga obulumi abasuubuzi bwe bayitamu mu kibuga Kampala.

Abasuubuzi baalumirizza ne boofiisa ba URA abababbako emmaali n’okubakwata obubi nga baleetedde emmaali yaabwe ku nnyonyi, abaserikale ba KCCA ababasibisiza obwereere ne balandiroodi abongeza ez’obupangisa n’okubagobaganya ku bizimbe nga baliko bye beemulugunya.

“Tugenda ne tuleeta ‘ppiisi’ nga 90 ku nnyonyi, kyokka URA bw’ezitwala gy’ebalira omusolo, zigenda okudda nga teziwera.Kyokka bw’obabuuza endala gye ziri nga beebuzaabuza okutuusa lw’ozivaako okusigaza obulamu kuba abamu bakolagana n’abaserikale,” omu ku basuubuzi bwe yalumirizza.

Yawagiddwa banne abaakulembeddwa Phiona Ayebare, eyakulukusizza amaziga ng’attottola engeri abaserikale ba KCCA gye baamusibako emisango oluvannyuma lw’okumukwatira mu kibuga ng’ayita bakasitoma ne bamusibisa mu kkomera e Kigo.

Mu kubaanukula, omuyambi w’omuwandiisi mu minisitule ya Kampala, Evelyn Atuhirwe Kamya ne Francis Wandera ow’omu maka g’Obwapulezidenti, baasuubizza okunoonyereza ku boofiisa ba URA ne KCCA.

 Baasabye ebitongole bino okubeeramu ak’obuntu bakomye okutulugunya abasuubuzi abasasula emisolo kwe bafuna omusaala.

Atwala poliisi ya CPS, Abrahams Tukundane, yasabye bannabyabufuzi okukomya okupangisa abamenyi b’amateeka abava ku mulamwa gw’okubawerekera ne banyakula emmaali y’abasuubuzi omuli; amasimu, ensawo ne ssente enkalu.

Yaweze okubakwata mu bikwekweto bye batandise okukola mu Kampala n’emiriraano.