Abanyarwanda abaagala paasipooti bateereddwako obukwakkulizo!

EKITONGOLE ekigaba paasipooti mu ggwanga kiwadde Abanyarwanda abaagala okuzifuna obukwakkulizo bwe balina okutuukiriza okuzifuna. 

Abanyarwanda abaagala paasipooti bateereddwako obukwakkulizo!
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Amawulire #Paasipooti #Banyarwanda

EKITONGOLE ekigaba paasipooti mu ggwanga kiwadde Abanyarwanda abaagala okuzifuna obukwakkulizo bwe balina okutuukiriza okuzifuna. 

Omwogezi wa Minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga, Simon Mundeyi yagambye nti Pulezidenti Museveni nga June 25, 2025 yasisinkana abakungu ba Minisitule abaakulembererwa minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda, Gen. David Muhoozi wamu n’abakulembeze b’Abanyarwanda abaali beemulugunya nti balemeseddwa okuweebwa paasipooti nti si Bannayuganda. 

 

Yagambye nti okusinziira ku kuwabulwa okwakolebwa Pulezidenti, yasalawo nti ayagala okufuna paasipooti alina okuba ng’ava mu mawanga gannansangwa, alina okufuna ebbaluwa emusembe okuva ewa ssentebe w’ekyalo bazadde be kwe baali babeera oluvannyuma bagende ku LC II nayo ekakase esseeko sitampu. 

Balina okugenda ku LC III bakakasibwe, baddeko ewa GISO alina okuteekako NIN nnamba ye olwo ebbaluwa zitwalibwe ewa Kamisona avunaanyizibwa ku butuuze n’okugaba paasipooti zongere okwekenneenyezebwa.