Gen Mugisha Muntunafuna owa ANT atuuse e Lweza okwewandiisa awerekeddwako abanene ba ANT okuli: Winnie Kiiza eyakukirako oludda okuvuganya, Kasiano Wadri, Alice Alaso n'abalala.
Amaze okuwaayo ebimukwatako okuli empapula z'okwewandiisa, empapula z'obuyigirize, n'emikono gy'abantu abamusemba okwesimbawo.
Emmotoka eziweebwa abeesimbyewo.
Byabakama yagambye nti buli eyeesimbyewo bamuwa kabangali okuli abasirikale ba poliisi abalina okumukuuma ebbanga lyonna lyanaamala ng'anoonya obululu.
Buvunanyizibwa bwa kakiiko okulabirira emmotoka nga bagikanika n'okugiteekamu amafuta n'okulabirira abasirikale.
Abasirikale balina okuwa obukuumi eyeesimbyewo buli gyatambulira n'ewaka we.
Emmotoka erimu dereeva asasulirwa akakiiko k'ebyokulonda era eyeesimbyewo takkirizibwa kumukyusa