PREMIUM
Amawulire

Katikkiro Mayiga awadde ekiragiro ku bitongole by'obwa Kabaka

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga alagidde abakulira ebitongole by'Obwakabaka okunyoola emikono abakozi bebasanze nga babba ssente za Kabaka. 

Katikkiro ng'ayogera
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision


KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga alagidde abakulira ebitongole by'Obwakabaka okunyoola emikono abakozi bebasanze nga babba ssente za Kabaka. 

Mayiga agamba nti nkola ya Bwakabaka obutagumikiriza bulyake na nguzi nga baagala buli nnusu eteekebwe ku mulimu ogwo gweteekeddwa okukola. 

Katikkiro Mayiga era abasabye okuteekawo embeera y'okuyigiriza n'okubangula abakozi enkola ezibasobozesa okuwereeza obulungi. 
Bino abibasabidde mu nsisinkano yaabwe naye eya buli mwaka ng'ebadde ku kitebe ky'ekitongole ky'ebyobulambuzi mu Buganda ki Buganda Heritage & Tourism Board e Butikkiro-Mmengo nga September 23,2025.

Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abakulira ebitongole by'Obwakabaka, Roland Ssebuwufu nga y'akulira ekitongole ki Bicul-ekitumbula obusizi bw'ensimbi mu Buganda abuulidde Katikkiro ng'ebitongole bino bwebikoze ku bimu ku biragiro byeyabiwa omwaka oguwedde okuli okukola amagoba ate n'okutereeza ebitabo byaabyo n'ekitongole ky'emisolo mu Uganda ki URA. 

Katikkiro Mayiga n'abakulira ebitongole by'Obwakabaka

Katikkiro Mayiga n'abakulira ebitongole by'Obwakabaka

Obwakabaka bulina ebitongole ebisoba mu 20 ng'era Mayiga asinzidde wano n'asaba ababikulira okuli nga buli kyebikola Kibeera Kya mutindo gwa waggulu. Kino Mayiga agambye nti kyekyayagaza abazzi, Obwakabaka bwebutyo nebufuuka eky'okulabirako mu Buvanjuba n'amassekkati ga Afrika nga buli kitundu ekiriko kyekikola, kisooka kulabira ku Buganda. 

Omukolo guno gwetabiddwako Baminisita ne Bassentebe ba bboodi b'ebitongole bino

Tags: