ABADDUSI b’emisinde egy’okwetooloola ebyalo batandise okugolola ebinywa
n'abamu okwesunga okuwangula kavvu mu misinde gya MTN Marathon eginaddukibwa nga November 20 mu Kampala.
Victor Kiplangat, eyawangudde zaabu mu Commonwealth agambye nti y’omu ku bagenda okuvuganya mu misinde gino gy’agambye nti mwe yalabira ttalanta ye bwe yagidduka mu 2004. Egy'omwaka guno gya mulundi gwa 17 okuva mu 2003 lwe gyatandika.
Gya mitendera okuli; kirommita 42, 21, 10 ne 5 mu bakazi n’abasajja, abaana n’abaliko
obulemu era okwewandiisa kwatandise leero kuggalwewo nga November 16. Gisuubirwamu abaddusi abasoba mu 20,000 okusinziira kw’akulira emirimu mu MTN, Sylivia Mulinge.
Bwe yabadde ayogera mu kutongoza emisinde gino eggulo mu Kampala, Mulinge yasiimye kkampuni ezigitaddemu ssente okuli; Vision Group (150,000,000/- ), Coca Cola - Rwenzori (75,000,000/-) ng’abalala kuliko; NBS, MTN MoMo, Stanbic Bank
ne Huawei.
Okusinziira ku Mulinge, ensimbi ezinaava mu misinde gino zaakuyambako mu kukendeeza ku baana abafa nga bato mu malwaliro ana okuli; Kisenyi ne Kawaala mu Kampala wamu ne Kaabong Mission mu Karamoja, ne Kachumbali mu Teso.
“Omulamwa gw’omwaka guno gugamba nti ‘Run For Babies’ (dduka olw’omwana). Kyazuulwa nti abaana 42 ku 100 abazaalibwa mu Uganda bafa n'okulwala ebirwadde ebikambwe lwa mbeera embi mwe bazaalirwa. Kino twagala kukikendeeza," Mulinge
bw'agamba.
Akulira Vision Group, Don Wanyama ategeezezza nti guno mulundi gwa 16 nga kkampuni eno eyamba ku misinde gino.
“Tusanyukidde omulamwa guno. Tutaddemu obukadde 150 era tugenda kugiweereza butereevu ku mikutu gyaffe egy'amawulire,” Wanyama bwe yategeezezza.
Nnankulu wa Kampala, Dorothy Kisaka yasiimye aba MTN okuzzaawo emisinde gino n’agamba nti abaana 3,500 be bafa mu Kampala.
Okwewandiisa kuli ku ofiisi za MTN ku Crested Towers, Forest Mall, Victoria Mall Ntebe, Nkrumah Road, Clock Towers neku Jinja Road.
Abaneewandiisiza ku MTN MoMo baakusasula 20,000/- mu kifo kya 40,000/-. Ku luno mulimu n'emisinde gy’abaana egya kirommita 5.