JJAJJA abadde yeevuga ne bazzukulu be bana ku pikipiki mmotoka ebadde eweenyuuka obuweewo ebatomedde n'afiirawo mbulaga n'omuzzukulu omu, abalala basatu ne batwalibwa mu malwaliro ng'embeera mbi.
Akabenje kano kagudde Mukoko mu ggombolola y'e Bukulula e Kalungu ku luguudo lwa Kampala-Masaka.

Abamu Ku bazzukulu abaasimattuse
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Twaha Kasirye afiiriddewo ye Hassan Kiweewa 54, omutuuze w'e Bisanje mu Bukulula ate omwana Habibah Nassolo 8 afudde baakamutuusa mu ddwaaliro lya Bukulula Health Cetre IV.
Babadde batambulira ku pikipiki nnamba UES 047C Bajaj Boxer emmotoka ekika kya Toyota Fielder nnamba UBL 152R ebadde ku misinde egya yiriyiri ng'edda ku ludda lw'e Masaka n'ebasaabala.
Abaana abalala Ayati Nassali 5 ,Rayan Lujumwa 8 ne Ratifah Namuwonge 9 basimattuse n'ebisago eby'amaanyi nga kuliko abamenyese amagulu n'emikono.

Abamu Ku BaFfamire Z'abagenzi nga bakuba ebiwoobe
Abatuuze abeerabiddeko ng'akabenje kano kagwawo baategeezezza nti Kiwewa abaana bano abaddde abaggya mu saloon kusala nviiri ng'emmotoka ebatomedde omugoba waayo abadde agezaako kuyisa endala kwe kubambalira.
Kasirye ayongeddeko nti emmotoka ekoze akabenje kano ekwatiddwa n'etwalibwa ku poliisi e Lukaya n'emirambo ne gitwalibwa mu ggwanika e Masaka okwekebejjebwa nga bwe banoonyereza ekivuddeko akabenje.
Wabula alabudde abagoba b'ebidduka okwegendereza amakubo naddala mu biseera bino eby'ennaku enkulu nti kubanga amateeka weegali okubakangavvula.