Mmengo efunye ettaka wegenda okussa ekyuma ekigatto omutindo ku mmwaanyi

MMENGO emaliriza okufuna ettaka e Nakisunga mu ssaza ly'e Kyaggwe kwegenda okuzimba ekyuma ekigenda okusunsula n’okugatta omutindo ku mmwaanyi

Aba Dp Block nga bakiise e Mmengo
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

MMENGO emaliriza okufuna ettaka e Nakisunga mu ssaza ly'e Kyaggwe kwegenda okuzimba ekyuma ekigenda okusunsula n’okugatta omutindo ku mmwaanyi.

Ekyama kino kyabotoddwa Omumyuka ow'okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa nga yasinzidde Bulange-Mmengo ku Lwokuna November 14,2024 bweyabadde atikkula abantu okuva mu ggombolola ez'enjawulo okuva e Butambala,Ssingo,Bugerere saako n'ebibiina okuli DP Bloc neekyo ekitaba Abalungamya b'emikolo,Oluwalo lwaabwe.

DP Block ng'ekiise e Mmengo

DP Block ng'ekiise e Mmengo

Yabadde ayanukula aboogezi ab'enjawulo ku mukolo okwabadde Hajj Bashir Ziraba,Omumyuka asooka ow'omwami w'essaza ly'e Bugerere eyagambye nti abantu balinze eddoboozi ly'Obwakabaka ku Kiki kyebagenda okukolera Emmwaanyi oluvanyuma lwa gavumenti eyawakati okuggyawo ekitongole ki Uganda Coffee Development Authority (UCDA).

"Obwakabaka bufunye n’ettaka era lyawereddwa Emwanyi Terimba Ltd e Nakisunga webagenda okuzimba ekyuma ekisunsula emmwaanyi n’ekisiika kaawa,tugatte omutindo ku mmwaanyi. Abeerwanyalwanyi,abeeyombyayombya n’abeeyogezayogeza,mubaveeko;- mulime emmwaanyi,mugatte omutindo ku mmwaanyi,munywe,mutunde emmwaanyi, emmwaanyi ejja kubaawo si yaabwe," Nsibirwa bweyabulidde abantu.

Ku kibuuzo kya Hajj. Ziraba,Nsibirwa yayongedde n'ayanukula bwaati;

 "Bangi mwebuuza nti enteekateeka ya gavumenti ya Kabaka eri ki?, egenda kwongera amaanyi mu kulima emmwaanyi..egenda kwongera amaanyi mu kulima emmwaanyi ng’ekola ki, ng’eyongera amaanyi mu kitongole kya BUCADEF. Ebivuddewo oba byebaggyewo,tulabe nga BUCADEF ekitongole ky’Obwakabaka nga kibituukiriza."

Mu nteekateeka eno,empty, Nsibirwa yagambye ng'Obwakabaka bwebwetaaza abalimi ebintu bibiri oba bisatu okuli okulima mu bungi Emmwaanyi zino,okukuuma omutindo gwaazo okuviira ddala mu kuzisimba,okuzirabirira nga zikula,okunoga ezeengedde ate n'okuzaanika obulungi saako n'okwetaba mu kaweefube w'okuzisiika n'okuzinywa,awo basirike.

Dp 5

Dp 5

"Obwakabaka bugenda kukola ki? Bubasaba ki? Mwongere omutindo ku mmwaanyi. Okwongera omutindo ku mmwaanyi si kuzisiika busiisi,bwonoga emmwaanyi enyengevu,obeera ogatta omutindo ku mmwaanyi,okuzaanika mu kifo emirungi n'ebirala obeera otumbula omutindo gwaazo," Nsibirwa bweyagambye.

Ku ntandikwa y'omwezi guno,gavumenti eyawakati ng'eyita mu Palamenti yayisa etteeka eriggyawo UCDA nga Kati yakuzibwa mu Minisitule y'ebyobulimi mu Uganda ng'emmeeza,ekintu Bannayuganda bangi kyebawakkanyiza olw'obukulu bw'ekirime ky'emmwaanyi gyebali.

Bucadef,yatandikibwawo mu 1994 n'ekigendererwa ky'okutumbula embeera y'abantu okuyita mu bulimi,obulungi n'ebirala ebiri mu kkoowe eryo. Kino Obwakabaka bwekigenda okwongera amaanyi,okuyamba abalimi ku bikwata ku Mmwaanyi.

Nsibirwa era yasinzidde wano n’awa Bannabyabufuzi amagezi bulijjo okwekwata ennyingo y’okuwuliziganya,okuteeseganya saako n’okugumikkiriziganya nga kino kyatumbula omutindo gw’obukulembeze bwaabwe.

Ye Omukulembeze w’ekisinde kya DP Bloc, Walter Lubega Mukaaku asinzidde wano n’ategeeza nga bwebazze embuga okutondawo enkwatagana n’Obwakabaka naddala ku kaweefube w’okutumbula embeera z’abantu.

Mukaaku yayanjudde oluwalo lwa bukadde 13 zebeesonzemu okuwagira emirimu gy’Obwakabaka era neyeyama nti baakugenda mu maaso okutambulira awamu n’Obwakabaka n’anokolayo eky’okulwanirira abalimi baleme kunyunyutibwa mu nsonga y’emmwaanyi.

Minisita wa Kabineeti n’Olukiiko, Noah Kiyimba nga yeyabaddewo ku lwa minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki atali mu ggwanga, yasabye abantu obutakowa kuwanirira mirimu gy’Obwakabaka kubanga mu kkubo lino mweyita okukola ebintu ebizimba Obwakabaka.

Ab’e Ngando-Butambala baleese 1,750,000/-,Nazigo-Bugerere 8,670,000/-,Kiganda- Ssingo 2,920,000/-, MUMSA High School 4,526600/-,Abalungamya b’emikolo 3,330,000/- olwo omugatte negubeera 43,156,600/-.