Minisitule y’ebyenjigiriza etandise okutalaaga amasomero naddala ag’obwannanyini ng’esomesa bammemba abatuula ku bukiiko obugafuga obumanyiddwa nga ‘board of guvnors’.
Edward Ssebukyu, kamiisona avunaanyizibwa ku masomero g’obwannannyini agambye nti basazeewo okutandika okutalaaga amasomero nga bwe basomesa bammemba b’obukiiko obufuzi obw’amasomero ago nga baluubirira okulaba nga bano babategeeza obuvunaanyizibwa bwabwe ku nzirukanya ennungi ey’amasomero.
Rashid Kikomeko (ku Kkono) Akulira Eby'enjigiriza Mu Disitulikiti Y'e Mukono Ng'abuuza Ku Mumyuka Wa Kkamisona George Mutekanga (ku Ddyo) Wakati Ye Kkamisona Ssebukyu.
Okwogera bino, kamiisona Ssebukyu abadde mu kusomesa bammemba ba bboodi abatwala amasomero okuli Seeta High School (Main Campus), Seeta High School Mukono, Seeta High School Green Campus ne Seeta High School A Level Campus ng’omusomo ogumaze olunaku olulamba gutudde ku ssomero lya Seeta High School e Seeta mu munisipaali y’e Mukono.
Ssebukyu agambye nti baasaba Minisita omubeezi ow’eby’enjigiriza ebyawaggulu John Chrysostom Muyingo mu nteekateeka eno batandikire ku masomero ge gano aga Seeta High n’agamu ku malala amanene mu ggwanga olwo balyoke baddebatandike ku malala nga tewali kye beekwasa.
Ono ategeezezza nti kye kiseera bannanyini masomero okulonda bammemba abakola obukiiko buno kuba kya buwaze buli ssomero okubeera nabwo ate nga si bwa kifaananyi wabula nga bukola.
Abamu Ku Bali Ku bukiiko Obufuga Amasomero Ga Seeta High.
Ssebukyu era alabudde bannanyini masomero abakola ogw’okuwandiika abakulira amasomero gano nga bwe babagoba n’agamba nti kino si kirungi era kiteeka amasomero gaabwe mu kaseera akazibu.
Atwala ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Mukono, Rashid Kikomeko ategeezezza nti amasomero mangi agali mu disitulikiti y’e Mukono ag’obwannanyini nga tegalina bukiiko bufuzi bugaddukanya ky’agambye nti kimenya amateeka agafuga ebyenjigiriza mu ggwanga.
Kikomeko asabye amasomero agagwa mu kkowe eryo okwanguwa okulonda bammemba abo we banaagatuukirako nga weebali basobole okubasomesa ku buvaanyizibwa bwabwe.
“Ssinga essomero liremererwa okutuukiriza amateeka g’ebyenjigiriza, tuba tusobola okuliggalawo okutuuka nga lituukirizza buli kimu,” Kikomeko bwe yannyonnyodde.
Kkamisona Ssebukyu Ng'ayogera Eri Abali Ku Bukiiko Obufuzi Obw'amasomero Ga Seeta High.
Okusinziira ku Kikomeko, akakiiko ako kaba kalina kubeerako bammemba 12 nga ne ssentebe waako kw’omutadde omuli abataano abalondebwa omutandisi w’essomero, akiikirira abayizi abaasomerako mu ssomero eryo, bammemba babiri abakiikirira abazadde, abakiikriira abasomesa babiri ssaako akiikirira disitulikiti oba munisipaali ssaako mmemba okuva ku lukiiko olw’ekyalo essomero kwe liba.
Akwanaganya amasomero ga Seeta High, Davis Kafumbe agambye nti enteekateeka eno baajaanirizza kuba ebayamba okubangula abantu be bakola nabo okuddukanya amasomero gano okutuukana n’omutindo.
Ye Dr. Moris Tamale ssentebe w’obukiiko obufuzi obuddukanya amasomero ga Seeta High agambye nti wadde babaddewo okumala ekiseera nga baweereza, omukisa guno aba Minisitule y’eby’enjigiriza gwe baabawadde okwongera okubabangula baagwanirizza era bingi bye bayize.
Ku ky’abamu ku bakulira obukiiko obwo okwagala okuyingira obutereevu mu nzirukanya y’amasomero ate ekiremesa abagakulira (heedimasita) emirimu ekyanokoddwayo kkamisona Ssebukyu, Dr. Tamale agambye nti si kituufu, ng’omulimu gwabwe guba gwa kuteekateeka olwo ye omukulu w’essomero n’ateeka mu nkola ebyo bye baba bateeseteese.
Amyuka kamiisona w’amasomero g’obwanannyini mu minisitule, George Muteekanga y’omu ku bakoze ogw’okusomesa, so ng’ate mukyala wa Minisita Muyingo nga ye Rose Muyingo y’abaddewo nga dayirekita.