"Gavumenti yasuulirira omwana omulenzi ekivuddeko okukola obubi ebigezo"

EYALIKO minisita w'ebyobuwangwa n'ennono e Mengo era munnabyanjigiriza omutandisi w'amasomero ga Gombe, David Kyewalabye Male yagambye nti ebimu ku bivuddeko omwana omulenzi obutakola bulungi mu bigezo kwe kuba nti yasuulirirwa.

"Gavumenti yasuulirira omwana omulenzi ekivuddeko okukola obubi ebigezo"
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Bigezo #Bibuuzo #Mulenzi #Kusuulirira #Gavumenti #Omwana

EYALIKO minisita w'ebyobuwangwa n'ennono e Mengo era munnabyanjigiriza omutandisi w'amasomero ga Gombe, David Kyewalabye Male yagambye nti ebimu ku bivuddeko omwana omulenzi obutakola bulungi mu bigezo kwe kuba nti yasuulirirwa.

Ono yasinzidde ku bigezo ebyakafulumizibwa ebya PLE n'ategeeza nti ebbanga ddene nga Gavumenti essira eriteeka ku mwana muwala yekka abalenzi ne balekebwa ttayo ky'agamba nti oba oli awo kye kivuddeko n'okukola kwabwe obulungi okusalika.

Kyewalabye agamba nti ne bw'otunuulira abayizi abaakatikkirwa e Makerere, era abaana abawala be baabadde basinga obungi okusinga abalenzi ekikkaatiriza eky'okusuulirirwa.

Yategeezezza nti newankubadde yo Gavumenti yandiba ng’etuukiriza ebigendererwa byayo eby'okusitula omwana omuwala, kyokka okusinziira ku nkula ya ssemazinga Africa, omusajja akyalina obuvunaanyizibwa ku nkulaakulana y'amaka n'ensi.

Yennyamidde nti wandibaawo omuwaatwa omunene ssinga n'abalenzi tebafiibwako kimala. Yagambye nti kati ekiseera kituuse obutasuusuuta kikula kya muntu omu ssinga ebyenjigiriza byakudda engulu.

Yasabye Gavumenti kino okukitwala era n'agiraajanira ate okussa essira ne ku by'emikono Uganda okuganyulwamu.

Male yakubirizza abayizi abaayingidde siniya obutatwalibwa muyaga naddala ogwa tekinologiya n'asaba abazadde, n'abasomesa okuyamba ku bayizi bano abaayingidde eby'ensoma empya ey'okwetakulira.

Login to begin your journey to our premium content