Polof. Kateregga ayanjudde abaana be abagenda okuddukanya yunivaasite

OMUTANDISI wa Kampala Yunivasite, Pulofeesa Badru Ddungu Kateregga asekeredde abagezaako okwagala okumutwalako Yunivaasite gye yeetandikira nti kikafuuwe era n’ayanjulira olukiiko lwa Yunivasite abaana be bataano be yalonze okumuyambako okuddukanya Yunivasite.

Polof. Kateregga ayanjudde abaana be abagenda okuddukanya yunivaasite
NewVision Reporter
@NewVision
#Polof Kateregga #Yunivaasite #Pulofeesa Badru Ddungu Kateregga

OMUTANDISI wa Kampala Yunivasite, Pulofeesa Badru Ddungu Kateregga asekeredde abagezaako okwagala okumutwalako Yunivasite gye yeetandikira nti kikafuuwe era n’ayanjulira olukiiko lwa Yunivasite abaana be bataano be yalonze okumuyambako okuddukanya Yunivasite.

Polof. Kateregga yasinzidde ku matikkira ga Kampala University ag’omulundi ogwa 22, agaabadde e Ggaba n’asekerera be yayise bannakigwanyizi abaagala okumutwalako Yunivasite ye nti tekijja kusoboka wadde nga bazze bamulwanyisa enfunda eziwera.

Pulofeesa Kateregga (emabega Ku Ddyo) Ng’ayanjulira Olukiiko Lwa Kampala Yunivaasite Abamu Ku Baana Be Be Yasazeewo Okumuyambako Okuddukanya Yunivasite

Pulofeesa Kateregga (emabega Ku Ddyo) Ng’ayanjulira Olukiiko Lwa Kampala Yunivaasite Abamu Ku Baana Be Be Yasazeewo Okumuyambako Okuddukanya Yunivasite

Polof. Kateregga azze alumiriza mukyala we, Jolly Shubaiha okumutulugunya n’okwagala okumutta wadde nga naye azze abyegaana.

Abayizi abasoba mu 3000, be baatikkiddwa era Polofeesa Kateregga n’abasaba okusigala nga balwanirira ekitiibwa kya Kampala University okulabanga kisigalawo emyaka gyonna.

Polof. Kateregga yagambye nti oluvannyuma lw’embeera eyamutuukako, yasalawo okuyita abaana be okuva e Bulaaya gye babadde babeera okujja balwanire wamu okutaasa emmaali bannakigwanyizi gye baagala okubanyagako.

Polofeesa Kateregga abamu ku baana be yayanjulidde abantu kuliko; Muhammad Kateregga abeera e Sweden, Sarah Kateregga ow’e Bungereza, Rashidah Kateregga ow’e Canada ne Mubiru Faizal n’ategeeza nti bonna balina obukugu okulondoola n’okumuyambako okuddukanya Yunivasite gye yatandika emyaka 26 egiyise.

Polof.. Mondo Kagonyera, yasiimye Pulofeesa Kateregga olw’obuvumu bw’ayolesezza emyaka 26 bukyanga atandika Kampala University n’ategeeza nti nga Bannabyanjigiriza baakusigala nga batambula naye okukasa nti Yunivasite egenda mu maaso.

Omumyuka wa Katikkiro wa Uganda owookusatu, Hajjati Lukia Isanga Nakadaama mu bubaka bweyatisse Minisita Dr. Moriku Kaduch, yasiimye Pulofeesa Kateregga olw’ettoffaali ly’atadde ku byenjigiriza by’eggwanga n’amugumya nti gavumenti yakwongera okumuwagira mu buli kimu okulaba ng’abaana b’eggwanga basoma.

Login to begin your journey to our premium content