Lipooti ya Ubos eraze Bannayuganda bwe balwana okuyimirizaawo obulamu

4 hours ago

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga, kifulumizza lipooti eraga enger Bannayuganda gye batoba n’obulamu okubuyimirizaawo mu mbeera y’ebyenfunaejjuddemu okusoomoozebwa kw’ebbula ly’emirimu n’obuseere bw’emmere mubitundu ebitali bimu.

Minisita Lugoloobi (owookubiri ku kkono) n’abakungu ba UBOS abalala mu kutongoza alipoota.
NewVision Reporter
@NewVision
8 views

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga, kifulumizza lipooti eraga enger Bannayuganda gye batoba n’obulamu okubuyimirizaawo mu mbeera y’ebyenfuna
ejjuddemu okusoomoozebwa kw’ebbula ly’emirimu n’obuseere bw’emmere mu
bitundu ebitali bimu.
Lipooti eraze nti ebitundu ebimu biri bulungi era obwavu bukkidde ddala wansi ekisanyusizza abakulembeze ne basaba Gavumenti ekoppe enkola ekoleddwa eyo, bagikozese okuyamba okukulaakulanya ebitundu ebirala. Lipooti yakoleddwa kitongole
kya Uganda National Bureau of Statistics (UBOS) nga yatuumiddwa Uganda National Housing Survey 2023 ne 2024, era okutwaliza awamu, lipooti eno yalaze
nti obwavu mu ggwanga lyonna bwasse okuva ku bitundu 20.3 ku 100 okutuuka bitundu 16.1.
Omukolo gwabadde ku Hotel Africana mu Kampala. Minisita omubeezi ow’ebyensimbi
n’okutegekera eggwanga, Amos Lugoloobi ye yagitongozza ne yeebaza UBOS okukola lipooti eno, gye yagambye nti egenda kuyamba okutegekera eggwanga,
okulwanyisa obwavu n’okuyamba bamusigansimbi okumanya engeri gye bagenda
okukozesaamu ssente zaabwe.
Omukolo gwetabiddwaako abakulira olukiiko olufuga UBOS, Dr. Albert Byamugisha,
Alen Kabagenyi, akulira abakozi, Chris Mukiza, n’abakugu okuva mu bitongole bya Gavumenti eby’enjawulo.
EBIRI MU LIPOOTI
Abakugu balaze nti abantu 7,004,900 mu ggwanga lyonna bali mu mbeera mbi nga tebasobola kufuna ssente ziwera 3,600/- buli lunaku (doola ya America emu).
Abantu 5,300,000 ennaku ebayonka butaaba mu byalo ate abantu akakadde kamu
n’emitwalo 70 be bali obubi mu bibuga. Kyokka wadde lipooti eraze nti abantu abali obubi bakyali bangi, ate omuwendo gusseemu okusinziira ku bibalo engeri gye bazze babifulumyamu okuva mu 2019/2020 ne 2023/2024.
Ebitundu bya Buganda naddala disitulikiti nga Masaka, Mpigi, ebitundu by’e Ntebe, Mukono ne Buikwe obwavu bukendedde okuva ku bitundu 6.9 okukka ku 6.0. Ate Luweero, Nakasongola, Kiboga obwavu busse okuva ku bitundu 13.8 okutuuka ku 9.3.
Mu Kampala obwavu busse okuva ku bitundu 1.6 okutuuka ku bitundu 1.1. Ekitundu
ekisinze okulwanyisa obwavu kye kya Acholi, nga bwasse okuva ku 67.7 okutuuka ku 20.5.
Mu Ankole, obwavu bwasse okuva ku 13.2 mu 2019/20 okutuuka
 ku 3.2. E Kigezi busse okuva ku bitundu 27.8 okudda ku 11.1 . Ebitundu ebirala ebikoze
ssente kuliko ekya Lango okuva ku bitundu 23.4 okudda ku bitundu 18.8.
Kyokka e Teso obwavu bweyongedde nga buvudde ku bitundu 21.9 okutuuka ku 29.8.
Elgon buvudde ku bitundu 13.2 okutuuka ku 14.1. E Karamoja abatuuze beerya nkuta nga obwavu mu 2019/20 bwali wansi ku bitundu 65/7 kyokka omwaka oguwedde bweyongedde kati buli ku bitundu 74.2.
Abaakoze lipooti baawadde Gavumenti amagezi nti okuyamba abantu okuva mu mbeera
y’obwavu bwe balimu, okugeza Kampala esaana okwongera ensimbi eziwera ebitundu 0.3 ku buli 100 ku ezo z’egiwa ekiseera kino ate ekitundu kya Karamoja kyetaagisa okwongerwa ssente eziwera ebitundu 31.5 ku buli 100 kw’ezo z‘ebadde eteekayo.
Lipooti yalaze nti obwavu okutwaliza buzze bukka nga kino minisita Lugoloobi akitadde
ku nkola ya Gavumenti ey’okuyamba abantu abakola ssente naddala nga eya PDM
n’ebintu ebikoleddwa nga enguudo.
BANNAYUGANDA BAKOLERERA MMERE,
KUSULA, BYANJIGIRIZA
Lipooti era yalaze nti emmere, ennyumba ezipangisibwaebyenjigiriza, entambula n’ebyobulamu bye bisinga okutwala ssente z’abantu mu mbeera ey’okwerumya ennyo.
Emmere etwala ebitundu 44.2 ku buli 100 ku nnyingiza y’omuntu ate amayumba agapangisibwa n’ebikozesebwa nga amazzi n’amasannyalaze bitwala
ebitundu 15.9 ku buli 100.
Ebyenjigiriza bitwala 8.5 ku buli 100 ate entambula etwala ebitundu 6.2 ku buli 100
n’ebyobulamu bitwala 4.8 ku buli 100. Abakugu okuli Aggrey Kibenge ne Joseph Nyim baalaze okutya nti engeri abantu gye bafulumyamu ssente okugula eby’okukozesa tesobola kubasobozesa kukulaakulana era Gavumenti esaana eyongere
okubayamba.
ABAANA MU MASOMERO BAKENDEDDE
Lipooti eraze nti abaana mu masomero naddala aga pulayimale bagenda bakendeera mu byalo ne mu bibuga. Mu 2016/ 2017, mu byalo, abaana baali ebitundu 77.9 ku 100 ate
mu 2019 /20 baali 78.9 ate 2023 /24 baakendeera okutuuka ku bitundu 76.5 ku buli 100. Ate mu bibuga, abaana mu masomero ga pulayimale mu 2016/17 baali 85.3 ate 2019/2020 bakka ku 83.5 nga mu 2023 /24 baali 80.5 ku buli 100.
Ku bayizi abayingira siniya, lipoota eraga nti omuwendo gwesalira ddala naye nga tebannamanya
kwe kiva. Mu byalo abayizi abaayingizibwa mu masomero mu 2016/27 , baali ebitundu 32.3 ku 100, mu2019/20 baali 31.2 ate mu 2023/24 ne baba 26 .0.
Mu bibuga, abayizi abaayingira siniya mu 2016/17, baali 56.6 ate mu 2019/20, baali 53.2 ate mu 2023/24 baali 46.9. Kyokka mu ggwanga lyonna, mu 2016/17 baali 37.9 ku 100, 2019/20 ne bakka ku 36.8 ate mu 2023/24 ne baba 33.6 ku 100. Omukugu mu byenfuna, Hellen Namirembe yagambye nti embeera eno ya bulabe n’asaba Gavumenti
ezuule abaana abasinga abasoma pulayimale gye babulira ne batayingira siniya. Yagambye nti kiyinza okuba nga kiva ku bwavu obungi oba ebbula ly‘amasomero ga Gavumenti aga siniya.
EBYOBULAMU biri bitya Lipooti eraze nti ku bantu ebitundu 15.7 ku 100 bejjanjaba nga tebagenze mu malwaliro. Abantu abawera ebitundu .2 ku buli 100 bakozesa ddaggala lye banoga ku nsiko nga omululuuza, ate abatalina ssente za bujjanjabi
abapooceza mu mayumba bawera ebitundu 10.1 ku buli 100. Abalala ebitundu 9.8 tebalina malwaliro mu bitundu byabwe ate abamu ne bwe bagendayo temuli ddagala.
ABAKUGU kye bagamba Eyakulidde okunoonyereza n’okukola ipooti eno Sharon Apio yagambye nti ebigendererwa byali bya kuzuula mbeera abantu gye balimu mu maka
gaabwe naddala mu byenfuna n’obwavu kisobozese Gavumenti okweyambisa
bye bazudde okutegekera eggwanga.
Yagambye nti, baakufulumya lipooti endala ekwata ku nnyanja n’ebibira okuyambako ku nkulaakulana n’enkola y’emirimu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.