Minisita Rwamirama abakwasizza obugaali 1,000

MINISITA w’amagana Lt. Col. Dr. Bright Rwamirama akwasizza ab’obukiiko bwa LCI ne LC II obugaali obusoba mu 1,000 n’abasaba okubukozesa okusasaanya enkola ya PDM okusinga ku Emyooga egirimu vvulugu.

Minisita Rwamirama abakwasizza obugaali 1,000
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MINISITA w’amagana Lt. Col. Dr. Bright Rwamirama akwasizza ab’obukiiko bwa LCI ne LC II obugaali obusoba mu 1,000 n’abasaba okubukozesa okusasaanya enkola ya PDM okusinga ku Emyooga egirimu vvulugu.

Omukolo gubadde ku kitebe kya disitulikiti y’e Isingiro ng’ali n’abamu ku bakulembeze ba disitulikiti abaakulembeddwa ssentebe Alon Turahi.

Rwamirama asoose mu kkanso n’ategeeza nti, okulwanagana okwaliwo wakati w’eyali ssentebe kwaleetera bingi okugotaana n’ategeeza nti, kwavaako n’abaali basazeewo okuleeta ssente okukaluubirirwa.

Baayanjudde n’esimbi obuwumbi 46 obugendea okuleetebwa mu nkola ya UCMID nga bagenda kuziteeka mu kuzimba obutale n’amakubo.